Ekyamateeka Olwokubiri 20
20
Ebikwata ku ntalo
1“Bwemunatabaalanga okulwana n'abalabe bammwe, ne mulaba embalaasi n'amagaali n'eggye erisinga eryammwe obunene temubatyanga; kubanga Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey'e Misiri ali wamu nammwe.#Ma 31:6,8, Yos 17:18, Zab 20:7, Is 31:1; 41:10 2Bwe munaabanga mugenda mu lutalo, kabona anajjanga n'ayogera n'abantu, 3n'abagamba nti, Wulira ggwe Isiraeri, leero mugenda mu lutalo okulwana n'abalabe bammwe; muleme kuddirira wadde okutya, temukankana so temubatekemukira; 4kubanga Mukama Katonda wammwe ye agenda nammwe, okubalwanirira n'okubalokola eri abalabe bammwe.#Ma 1:30; 3:22, Yos 23:10 5Abakulu mu ggye banaayogeranga n'abantu nga bagamba nti, ‘ Wano waliwo omuntu eyazimba ennyumba empya naye nga tannagiwonga eri Mukama?’ Omuntu oyo addeyo eka agiwonge, si kulwa ng'afiira mu lutalo omuntu omulala n'agiwonga. 6Era muntu ki ali wano eyasimba olusuku lw'emizabbibu, so nga tannalya ku bibala byalwo? Addeyo eka alye ku bibala, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'abirya. 7Era muntu ki ali wano eyayogereza omukazi, so nga tannamuwasa? Addeyo eka amuwase, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'amuwasa. 8Abakulu baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti, Muntu ki wano atidde era aweddemu omutima? Oyo addeyo eka, sikulwa nga ne banne baggwamu omutima nga ye.#Balam 7:3 9Kale abakulu mu ggye bwe banaamalanga okwogera n'abalwanyi, banassangawo abaduumizi mu ggye okukulembera abalwanyi.”
10“Bwe munaasembereranga ekibuga okukirwanyisa, munaasokanga ne muwa abakirimu omukisa okujeemulukuka.#Ma 2:26, Balam 21:13, 2 Sam 20:20 11Awo abali mu kibuga ekyo bwe banaajeemulukukanga, ne beewaayo gye muli, ne babaggulirawo, banaabanga baddu bammwe era banaabaweerezanga.#1 Bassek 9:21 12Naye bwe batakkirizenga kwewaayo mu mirembe ne basalawo okulwana, ekibuga ekyo munaakirwanyisanga. 13Era Mukama Katonda wammwe bw'anaakigabulanga gye muli, munattanga buli musajja akirimu n'obwogi bw'ekitala.#Kubal 31:7 14Naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, binaabanga munyago gwammwe, munaabyetwaliranga ne mubikozesa, kubanga Mukama Katonda wammwe abibawadde.#Kubal 31:9, Yos 8:2 15Bwe mutyo bwe munaakolanga ebibuga byonna ebibali ewala ennyo, ebitali bya mu nsi gye mugenda okutuulamu. 16Naye ku bibuga by'abantu ebiri mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka; temuwonyangawo kintu kyonna ekissa omukka.#Kubal 21:35; 33:52, Yos 11:14 17Naye munaazikiririzanga ddala; Abakiiti, Abamoli, Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, ne Abayebusi; nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira;#Ma 7:1,2 18balemenga okubayigiriza okukola emizizo gyabwe gyonna gye baakoleranga bakatonda baabwe; bwe mutyo muleme okunyiiza Mukama Katonda wammwe.#Kuv 23:33, Ma 7:4; 12:30,31 19Bwe munaazingizanga ekibuga okumala ennaku ennyingi nga mulwana nakyo okukinyaga, temutemanga miti gya bibala, kubanga muyinza okugiryako, gyo si be balabe bammwe.#2 Bassek 3:19,25 20Emiti egyo gyokka egitaliibwako bibala, gye munaatemanga olw'okuzimbisa bye mwetaaga okulwanyisa ekibuga, okutuusa lwe munaakiwambanga.”
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 20: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.