Ekyamateeka Olwokubiri 19
19
Ebibuga eby'obuddukiro
1“Mukama Katonda wammwe bw'alizikiriza amawanga agali mu nsi gy'abawa okuba obutaka, ne mutuula mu bibuga byabwe ne mu nnyumba zaabwe. 2Mulyerondera ebibuga bisatu mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu.#Kuv 21:13, Kubal 35:10,11,14, Yos 20:2 3Ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka muligigabanyamu ebitundu bisatu, buli kimu nga kirimu ekibuga eby'obuddukiro, era mulyerimira enguudo ezituuka mu bibuga ebyo. Buli atta omuntu nga tagenderedde addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo. 4Oyo anattanga omuntu nga tagenderedde, so nga gw'asse tabadde mulabe we, annaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe.#Ma 4:42 5Ekyokulabirako, singa omuntu agenda ne munne mu kibira okutema omuti, n'agalula embazzi okugutema, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'ekuba munne n'emutta, oyo asse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'awonya obulamu bwe. 6Singa ekibuga kibeera ekimu, olugendo lwandibadde luwanvu nnyo okukituuka mu, oyo awooleera eggwanga ng'akyalina obusungu olw'omuntu eyattibwa, n'awondera eyatta, n'amutuukako, n'amutta, sso nga teyandittiddwa kubanga gwe yatta teyali mulabe we. 7Kyenva mbalagira mwerondere ebibuga bisatu. 8Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo zammwe, nga bwe yalayirira bajjajjammwe, n'abawa ensi yonna gye yasuubiza okuwa bajjajjammwe;#Lub 15:18-21, Kuv 34:24, Ma 12:20 9bwemuneekuumanga ebiragiro bino byonna okubikola, bye mbalagira leero, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge bulijjo; olwo ku bibuga bino ebisatu, mulyongerako ebibuga ebirala bisatu.#Yos 20:7,8 10Mulikola bwe mutyo, abantu abataliiko musango baleme kuttirwa mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, nammwe ne mubaako omusango. 11Naye omuntu yenna bw'akyawanga munne, n'amuteega, n'amufumita, n'amutta; n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo;#Kuv 21:12,14, Kubal 35:16-21 12kale abakadde b'ekibuga kye, banaamutumyanga ne bamuggyayo, ne bamuwaayo eri oyo awooleera eggwanga, n'attibwa. 13Temumukwatirwanga kisa, naye muggyangawo omutemu oyo, mulyoke mulabenga ebirungi.”#Kubal 35:33, Ma 21:9, 1 Bassek 2:31
Obutajjululanga ensalo ez'edda
14“Bwe mulituuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, temujjululanga bulambe obwa nsalo za baliraanwa bammwe, ab'edda ze baatekawo.”#Ma 27:17, Yob 24:2, Nge 22:28, Kos 5:10
Ebikwata ku bajulirwa
15“Omujulizi omu yekka taasingisenga muntu musango olw'ekibi oba olw'ekintu kyonna omuntu ky'anaabanga asobezza. Ensonga eneekakasibwanga lwa bujulizi bwa bantu babiri oba basatu.#Ma 17:6, Mat 18:16, 2 Kol 13:1, 1 Tim 5:19 16Omujulirwa ow'obulimba bw'anaawayirizanga munne okumusingisa omusango,#Kuv 23:1 17abantu bombi abatakkaanya banaagendanga mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne balamulwa bakabona n'abalamuzi abanaabeerangawo mu kiseera ekyo,#Ma 17:9 18kale abalamuzi banaakemerezanga nnyo: era, bwe banaazuulanga ng'omujulizi mulimba, ng'awaayirizza munne; 19banaamuwanga ekibonerezo ky'abadde ayagaliza munne. Bwe mutyo bwe munneggyangako ekibi ekyo.#Nge 19:5,9, Dan 6:24 20Awo abantu abalala banaawuliranga ne batya ne batakola kibi ng'ekyo mu mmwe. N'abo abasigalawo b'anaawuliranga ne batya ne batakola nate okuva ku biro biri obubi bwonna obuli ng'obwo wakati wo.#Ma 13:11 21So temukwatibwanga kisa; obulamu busasulwenga obulamu, eriiso lisasulwenga eriiso, erinnyo lisasulwenga erinnyo, omukono gusasulwenga omukono, n'ekigere kisasulwenga ekigere.”#Kuv 21:23,24, Mat 5:38
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 19: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.