Ekyamateeka Olwokubiri 18
18
Omugabo gwa bakabona
1“Bakabona Abaleevi, kye kika kyonna ekya Leevi, tebabanga na mugabo newakubadde obusika mu Isiraeri; wabula banaalyanga ebiweebwayo eri Mukama ebyokebwa n'omuliro, n'ebiweebwayo ebirala.#Kubal 18:8,9,20, 1 Kol 9:13 2Tebabanga na butaka mu baganda baabwe; Mukama bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba. 3Era lino lye linaabanga ebbanja lya bakabona lye banaabanjanga abantu, abo abanaawangayo ssaddaaka, bw'eba ente oba ndiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, n'enda.#Leev 7:30-34 4Ebibereberye by'eŋŋaano yo, eby'envinnyo yo n'eby'amafuta go, n'ebibereberye by'ebyoya by'endiga zo, onoobimuwanga.#Kubal 18:12 5Kubanga mu bika byammwe byonna Mukama Katonda wammwe yerobozamu ekika kya Leevi okumuweerezanga ennaku zonna.”#Ma 17:12
6“Omuleevi bw'anaavanga mu kimu ku bibuga byammwe mw'abeera n'agenda mu kifo ekirala Mukama ky'alyeroboza, era nga yeeyagalidde okugenda,#Kubal 35:2,3 7naaweerezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe nga baganda be bonna Abaleevi abaweerereza eyo mu maaso ga Mukama bwe bakola. 8Anaafunanga omugabo gwe mmere gwe gumu nga banne, nga tobaliddeeko ebyo by'anaabanga afunye mu b'eŋŋanda ze.”#2 Byom 31:4, Nek 12:44
Okwewalanga okukola Mukama by'akyawa
9“Bwe mutuukanga mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temugezanga ne muyiga okukola eby'emizizo eby'amawanga ago bye bakola.#Leev 18:26, Ma 12:29-31 10Tewabangawo omuntu yenna mu mmwe awaayo mutabani we oba muwalawe okwokebwa mu muliro nga ssaddaaka; newakubadde akola eby'obufumu, newakubadde alaguza ebire, newakubadde omulogo, newakubadde omuganga,#Kuv 22:18, Leev 18:21; 19:26,31, 1 Sam 28:7, 2 Bassek 17:17 11newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emmandwa, newakubadde abuuza abafu. 12Kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama; era olw'emizizo egyo, Mukama Katonda wammwe kyava abagoba mu nsi gye mugendamu.#Ma 9:4; 25:16 13Temuubengako kya kunenyezebwa eri Katonda wammwe.”
Ekisuubizo eky'okubatumira nnabbi
14“Kubanga amawanga gano ge mugenda okugoba mu nsi gye mugendamu, beebuuza ku abo abalaguza ebire n'abafumu; naye mmwe Mukama Katonda wammwe abagaanyi okukolanga bwe mutyo. 15Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi, ava mu baganda bammwe, afaanana nga nze; oyo gwe muliwulira;#Mat 11:3, Luk 7:16, Yok 1:21,45; 6:14; 7:40, Bik 3:22; 7:37 16kubanga mwasaba Mukama Katonda wammwe ku lusozi Kolebu, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako nga mwogera nti, ‘Tuleme kuddayo kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe nate, wadde okuddamu okulaba omuliro guno omungi, tuleme okufa.’#Kuv 20:19 17Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Boogedde bulungi.#Ma 5:28, Lub 15:18-21, Kuv 34:24, Ma 12:20 18Ndibayimusiza nnabbi okuva mu baganda baabwe, afaanana nga ggwe; era nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke, era alibabuulira byonna bye ndimulagira.#Ma 18:15, Yok 4:25; 8:28; 12:49,50; 17:8 19Kale buli ataliwulira bigambo byange nnabbi oyo by'alyogera mu linnya lyange, ekyo kye ndimuvunaana.#Bik 3:23 20Naye nnabbi anaayogeranga ekigambo mu linnya lyange nga yeetulinkirizza bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, nnabbi oyo anaafanga.’#Ma 13:5, Yer 14:14, Zek 13:3 21Era bwe muneebuuzanga mu mitima gyammwe nti, ‘Tunaategeeranga tutya ekigambo Mukama ky'atayogedde?’ 22Nnabbi bwanetulinkirizanga, n'ayogera mu linnya lya Mukama, byayogedde ne bitabaawo oba ne bitatuukirira, oyo temumutyanga.”#Yer 28:9
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 18: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.