Tewabangawo omuntu yenna mu mmwe awaayo mutabani we oba muwalawe okwokebwa mu muliro nga ssaddaaka; newakubadde akola eby'obufumu, newakubadde alaguza ebire, newakubadde omulogo, newakubadde omuganga, newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emmandwa, newakubadde abuuza abafu.