Ekyamateeka Olwokubiri 15
15
Omwaka ogw'omusanvu
1Buli myaka omusanvu bwe bweginaggwangako, onoosonyiwanga.#Kuv 23:10,11 2Era eno ye ngeri ey'okusonyiwa okwo: buli abanja, anaasonyiwanga ekyo kye yawola muliraanwa we; taakibanjenga muliraanwa we oba muganda we, kubanga Mukama y'alangiridde okusonyiwa okwo; 3wabula munnaggwanga oyinza okumubanja; naye ekintu kyonna ky'obanja muganda wo on'okimusonyiwanga.#Ma 23:20 4Olw'okubanga Mukama anaabawanga omukisa mu nsi gy'abawa okuba obutaka bwammwe, tewaabenga mwavu mu mmwe;#Ma 15:11; 28:8 5kasita munaanyiikiranga okuwulira, ne mutuukirizanga ebiragiro bye bino bye mbawa leero, 6era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa, nga bwe yakusuubiza; onoowolanga amawanga mangi, naye ggwe teweewolenga; era onoofuganga amawanga mangi, naye tebaakufugenga ggwe.#Ma 7:13; 28:12,13
7“Mu mmwe bwe munaabangamu omwavu mu kimu ku bibuga byammwe, mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temuukakanyazanga mitima gyammwe, ne mugaana okuyamba muganda wammwe oyo omwavu,#1 Yok 3:17 8wabula mumukwatirwanga ekisa, ne mumuwola byonna by'anaabanga yeetaaga.#Leev 25:35, Mat 5:42, Luk 6:34,35 9Weegendereze walemenga okubaawo obukodo mu mutima gwo, ng'oyogera nti omwaka ogw'omusanvu, gw'osonyiriramu gunaatera okutuuka, n'ogaana okuyamba muganda wo omwavu, naye n'akoowoola Mukama ng'akuwaabira, ne kiba kibi gy'oli.#Ma 24:15; 28:54, Mat 20:15; 25:44,45 10Tolemanga kumuwa, so omutima gwo tegunakuwalanga ng'omuwadde, bw'onookolanga bw'otyo, Mukama Katonda anaakuwanga omukisa mu mirimu gyonna gy'okola.#Ma 14:29, Nge 22:9; 28:27 11Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna; kyenva nkulagira nti tolemanga kuyamba muganda wo ali mu bwetaavu.”#Mat 26:11, Mak 14:7, Yok 12:8
Engeri y'okuyisaamu abaddu
12“Bwe bakuguzanga omwebbulaniya munno, omusajja oba omukazi, n'akuweereza okumala emyaka omukaaga, omwaka ogw'omusanvu omuteeranga ddala n'agenda.#Kuv 21:2, Yer 34:14 13Era bw'abanga agenda ng'omutadde, tomulekanga kugendanga talina kintu. 14Onoomuwanga ku mbuzi zo, ne ku mmere yo ey'empeke ne ku by'omussogolero lyo, nga Mukama bweyakuwa omukisa bw'otyo bw'onoomuwanga.#Ma 16:17 15Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula; kyenva nkulagira ekigambo ekyo leero.#Ma 5:15 16Naye omuddu wo bw'anaayagalanga okusigala naawe, kubanga akwagala ggwe n'ab'omu maka go, era nga mu mativu,#Kuv 21:5,6 17olwo n'olyoka oddira olukato n'omuwummula okutu kwe nga ali ku luggi, n'abeerera ddala muddu wo ennaku zonna. N'omuzaana wo bw'onoomukolanga bw'otyo. 18Tokalubirirwanga kumusonyiyiranga ddala n'agenda, kubanga yakuweereza emyaka mukaaga emirundi ebiri, okusinga oyo aweererezza empeera.”
Ensolo ezinasookanga okuzaalibwa
19“Ensolo zammwe ensajja ezisooka okuzaalibwa, ente, embuzi oba endiga, munaazaawulangamu nga za Mukama, temuzikozesanga mulimu gwonna, era n'embuzi oba endiga temuzisalangako byoya.#Kuv 13:2 20Buli mwaka, mmwe n'ab'omu maka gammwe munaaziriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okumusinzizangamu.#Ma 12:5,7; 14:23 21Naye bw'eneebangako obulema bwonna obutali bulungi, nga ziwenyera oba nzibe z'amaaso, oba obulema obulala bwonna, temuziwangayo eri Mukama Katonda wammwe.#Leev 22:20 22Ezo onooziriiranga munda w'ebibuga byo era abalongoofu n'abatali balongoofu banaaziryangako kyenkanyi nga bwe balya empeewo n'enjaza.#Ma 12:15,22 23Kyokka tolyanga musaayi gwazo, naye oguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.”#Leev 3:17, Ma 12:16
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 15: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.