Ekyamateeka Olwokubiri 14
14
Empisa ez'okukungubaga ezaaganibwa
1Mmwe muli baana ba Mukama Katonda wammwe; temwesalanga misale so temumwanga mitwe gyammwe okufaanana nga ab'ebiwalaata nga mukungubagira abafu.#Leev 19:28; 21:5, Is 1:2, Yer 16:6; 41:5, Kos 1:10, Bar 9:8,26, Bag 3:26 2Kubanga muli ggwanga ttukuvu erya Mukama Katonda wammwe, era Mukama yabalonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali mu nsi.#Ma 7:6
Ebintu ebyalagirwa okuliibwa n'ebyaganibwa okuliibwa
3Temulyaga ku kintu kyonna Mukama kyeyabagaana. 4Zino ze nsolo ze munaalyanga: ente, endiga n'embuzi,#Leev 11:2-23 5enjaza, empeewo, ennangaazi, embulabuzi, entamu, enteŋŋo n'endiga ey'omu nsiko.#14:5 Enteŋŋo Enteŋŋo kika kya ngabi, eba nnene nnyo nga kumpi eyagala kwenkana nte. Ennangaazi: ensolo eno yakula nga engabi, erina amagulu mawanvu, ennume eba n'amayembe ga matabi, edduka nnyo. Entamu: eno yeefaananyiriza empeewo, kyokka yo nnene nnyo, erina amayembe ageenyoolanyoola. Embulabuzi: eno ye mbuzi eyo mu nsiko 6na buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era erina ekinuulo ekyaseemu, ezza obwenkulumo, mu nsolo, ezo ze munaalyanga. 7Ku ezo ezizza obwenkulumo, oba ezirina ekinuulo ekyaseemu, zino ze mutalyanga: eŋŋamira, akamyu n'omusu, kubanga zizza obwenkulumu naye tezaawulamu kinuulo; si nnongoofu gye muli; 8n'embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo naye tezza bwekulumo, nayo si nnongoofu gye muli. Ennyama y'ensolo ezo temugiryangako, wadde okuzikwatako nga zifudde.
9Bino bye munaalyanga ku byonna ebiba mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagalagamba. 10Buli ekitalina maggwa n'amagamba temukiryanga; kubanga si kirongoofu gye muli.
11Ennyonyi zonna ennongoofu munaaziryanga. 12Zino ze zitali nnongoofu era temuziryangako: ennunda, empungu, makwanzi, 13wonzi, eddiirawamu, kamunye n'endala eziri mu ngeri ye; 14nnamuŋŋoona n'endala eziri mu ngeri ye; 15maaya, olubugabuga, olusove, enkambo n'endala eziri mu ngeri ye; 16ekiwuugulu, ekkufukufu, n'ekiwuugulu eky'amatu; 17kimbaala, ensega, enkobyokkobyo; 18kasida, ssekanyolya n'ebirala ebiri mu ngeri ye, ekkookootezi, n'ekinyira. 19Ne byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro si birongoofu gye muli; tebiriibwanga. 20Mulyanga ku nnyonyi zonna ennongoofu.
21Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka; muyinza okukiwa bannamawanga abali mu bibuga byammwe bakirye oba okukibaguza; kubanga mmwe muli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wammwe. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina gwayo.#Kuv 23:19, Leev 7:24; 22:8, Ma 14:2, Ez 4:14
Etteeka ery'ekimu eky'ekkumi
22Muneesoloozangako ekitundu ekimu eky'ekkumi ku bibala ebinaavanga mu nnimiro zammwe buli mwaka.#Leev 27:30, Kubal 18:21 23Era onooliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, n'eky'envinnyo yo, n'eky'amafuta go, n'ebibereberye by'ente zo n'eby'embuzi zo; oyige okutyanga Mukama Katonda wo ennaku zonna.#Ma 4:10; 12:5-7 24Era oba ng'olugendo lunaakuyiŋŋanga okuba olunene, n'okuyinza n'otoyinza kukitwalayo, kubanga ekifo kiyinze okukuba ewala, Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, Mukama Katonda wo bw'alikuwa omukisa;#Ma 12:21 25onookiwaanyisangamu effeeza, n'osiba effeeza mu mukono gwo, n'ogenda mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza: 26kale effeeza onoogigulangamu ekintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala, ente, oba ndiga, oba nvinnyo, oba ekitamiiza, oba ekintu kyonna emmeeme yo ky'eneekusabanga: era onooliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo, era onoosanyukanga ggwe n'ab'omu nnyumba yo: 27n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo, tomwabuliranga; kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe.#Kubal 18:20, Ma 12:19
28Ku buli nkomerero y'omwaka ogwokusatu munaakuŋŋaanyanga ebitundu byonna eby'ekkumi ne mubitereka mu bibuga byammwe;#Ma 15:10; 24:19; 26:12; 28:12, Zab 41:1, Nge 19:17, Mal 3:10 29n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu nammwe, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abali munda mu bibuga byammwe, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wammwe alyoke abawe omukisa mu mirimu gyonna gye mukola.
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 14: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.