Ekyamateeka Olwokubiri 13
13
1“Bwe wanaabangawo wakati mu mmwe nnabbi oba omuntu aloota ebirooto, n'abawa akabonero oba eky'amagero,#Yer 23:25,32, Mat 24:24; 7:22 2akabonero ako oba eky'amagero ekyo ne bwe kituukiriranga, kyokka n'abagamba okuweereza bakatonda abalala bemutamanyangako era be mutaweerezangako,#Kub 13:14 3temukkirizanga nnabbi oyo, oba omuntu oyo aloota ebirooto; kubanga Mukama Katonda wammwe anaabagezesanga okulaba oba nga mu mwagala n'omutima gwammwe gwonna n'obulamu bwammwe bwonna.#1 Kol 11:19 4Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezanga, ne mwegattanga naye.#Ma 10:20, 2 Bassek 23:3 5Era nnabbi oyo oba omuntu oyo aloota ebirooto anattibwanga; kubanga ayogedde ebigambo ebibajeemesa okuva ku Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'abanunula mu nnyumba ey'obuddu, nga abasendasenda okukyama okuva mu kkubo Mukama Katonda wammwe lye yabalagira okutambulirangamu. Kale mwe mutyo bwe munaggyangamu okwonoona wakati mu mmwe.”#Ma 17:7; 18:20; 21:21, Zek 13:3, 1 Kol 5:13
6“Muganda wo, mutabani wa nnyoko, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba omukazi wo, oba mukwano gwo ennyo, bw'akusendasendanga mu kyama, ng'ayogera nti, ‘tugende tuweereze bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe, newakubadde bajjajjaabo,’#Ma 17:2,3, 1 Sam 18:1,3 7ku bakatonda ab'amawanga agabeetoolodde, abali okumpi nammwe, oba abali ewala mu nsi,#Ma 6:14 8tomukkirizanga so tomuwuliranga; tomukwatirwanga kisa, tomusonyiwanga, so tomukwekanga; 9naye omuttanga; ggwe osookanga okumukuba amayinja n'abalala bonna ne balyoka bagamukuba okumutta.#Ma 17:7 10Onoomukubanga amayinja okumutta, kubanga yagezaako okukusedasenda okuva ku Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu. 11Abaisiraeri bonna bwe banaakiwuliranga ekyo, ne batya, era tewaabengawo mu mmwe muntu anaagezangako okukola ekibi ekifaanana bwe kityo wakati mu mmwe.”#Ma 17:13; 19:20
12“Bwemunawuliranga nga boogera ku kimu ku bibuga byammwe, Mukama Katonda wammwe by'abawa okutuulamu, nga bagamba nti, 13Waliwo abantu abataliiko kye bagasa abavudde wakati mu mmwe, era abasenzesenze abatuula mu bibuga byammwe, nga boogera nti, Tugende tuweereze bakatonda abalala, be mutamanyanga; 14muneekennenyanga ebigambo ebyo, oba nga ddala bituufu; bwe kizuulibwanga nti bya muzizo era nga bikolebwa wakati mu mmwe;#Ma 17:4 15mukwatanga ebitala ne muzikiriza buli muntu atuula mu kibuga ekyo. Musaanyizangawo ddala ekibuga, ne mutta n'ekitala buli muntu akirimu awamu n'ebisolo byonna. 16Era mukuŋŋaanyizanga wakati mu kibuga ebintu byonna eby'abantu ne mulyoka mu kyokya n'omuliro wamu n'ebintu by'abantu byonna; okuba nga ssaddaaka enjokye eri Mukama Katonda wammwe. Ekibuga ekyo kinaabeeranga matongo ennaku zonna.#Yos 8:28, Yer 30:18; 49:2 17Temweterekerangako ku kintu kyonna ekikolimiddwa, Mukama alyoke akyuke okuleka obusungu bwe obungi, abalage ekisa, abasaasire era abaaze, nga bwe yalayirira bajjajjammwe.#Lub 22:17, Yos 6:18; 7:26 18Muwulirenga eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe, mwekuumanga ebiragiro bye byonna bye mbalagira leero, okukolanga ebiri mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ebirungi.”#Ma 12:25,28
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 13: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.