2 Abasessaloniika Ennyanjula
Ennyanjula
Abasessaloniika eyokubiri ennyweza ebiri mu Abasessaloniika eyoluberyeberye; okutegeera okutuukirira kw'ebisuubizo bya Katonda mu kudda kwa Kristo era ne bisaanira okukola nga ekiseera ekyo tekinatuuka. Ebbaluwa eno Pawulo yagiwandiika nga yakamala okuwandiika ebbaluwa esooka nga atereeza endowooza egamba nti olunaku lw'okudda kwa Mukama waffe lwali lutuuse. Ebbaluwa eno enyweza nti tetumanyidde ddala lunaku naye tulina okulwana n'ekibi. Ebyetaagisa ebya buli lunaku bisimbwako nnyo essira; tusaana okusigala nga tukola emirimu ne Pawulo yennyini yali mukozi. Atakola n'okulya taalyenga. Ebbaluwa eno yawandiikibwa awo nga mu 51 oba 52 AD.
Ebiri mu bbaluwa
I. Okulamusa (1:1-2).
II. Okwebaza n'okugumya abayigganyizibwa (1:3-12).
III. Olunaku lw'okujja kwa Mukama waffe (2:1-17).
IV. Obukuumi bwa Mukama waffe mu mbeera ezikyuka (3:1-5).
V. Ab'oluganda abagayaavu (3:6-15).
VI. Ebisembayo (3:16-18).
Currently Selected:
2 Abasessaloniika Ennyanjula: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.