YouVersion Logo
Search Icon

2 Abasessaloniika 1

1
Okulamusa abawandiikirwa ebbaluwa
1Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo;#1 Bas 1:1 2ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.#Bar 1:7
Okwebaza n'okugumya abayigganyizibwa
3Kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, n'okwagalana kwa buli muntu kw'alina eri munne kweyongera.#1 Bas 1:2,3, 2 Bas 2:13 4Naffe bennyini n'okwenyumiriza ne twenyumiririzanga mu mmwe mu kkanisa za Katonda olw'okugumiikiriza kwammwe n'okukkiriza mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna n'okubonaabona bye mugumira.#2 Kol 7:4, Kub 1:9, 1 Bas 2:19; 3:2,7 5Ebyo ke kabonero k'omusango gwa Katonda ogw'ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n'okubonaabona bwe mubonaabonera.#1 Bas 2:12, Baf 1:28, Luk 20:35 6Kuba ddala kya nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abo abababonyaabonya,#Kub 18:6,7, Bar 12:19 7era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okuwummula awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika be ab'obuyinza mu muliro ogwaka.#Mat 25:31, 1 Bas 3:13; 4:16 8Aliwalana eggwanga ku abo abatamanyi Katonda, n'abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu.#Bar 2:8, Is 66:15, Yer 10:25, Zab 79:6, 1 Peet 4:17 9Balibonerezebwa, n'okuzikirira okw'emirembe n'emirembe, n'okugobebwa okuva mu maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky'amaanyi ge.#Is 2:10,19,21 10Bw'alijja ku lunnaku olwo okuweebwa ekitiibwa mu batukuvu be, n'okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza (kubanga okutegeeza kwaffe gye muli kwakkirizibwa) ku lunaku luli.#1 Bas 3:13, Bak 3:4, Zab 89:7; 69:36, Is 49:3; 2:11,17 11Kyetuva tubasabira ennaku zonna, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe, era atuukirize buli kye mwagala eky'obulungi na buli mulimu gwe mukola olw'okukkiriza mu maanyi ge.#1 Bas 1:2,3 12Bwerityo erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke liweebwe ekitiibwa mu mmwe, era nammwe mu ye ng'ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.#Is 24:15; 66:5, Mal 1:11

Currently Selected:

2 Abasessaloniika 1: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in