YouVersion Logo
Search Icon

2 Abasessaloniika 3

3
Okusabira omulimu gwa Mukama waffe
1Eky'enkomerero, ab'oluganda, mutusabirenga ekigambo kya Mukama waffe kibune mangu, era kiweebwenga ekitiibwa, era nga bwe kyali mu mmwe.#1 Bas 1:8; 5:25 2Era mutusabire, tulokolebwe okuva mu bantu abatalina magezi era ababi; kubanga okukkiriza si kwa bonna. 3Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza, era anaabakuumanga eri omubi.#1 Bas 5:24 4Era twesiga Mukama waffe mu bigambo byammwe, nga mukola bye twabalagira era munaabikolanga.#1 Bas 4:10, Bag 5:10, 2 Kol 7:16 5Era Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe okutuuka mu kwagala kwa Katonda ne mu kugumiikiriza kwa Kristo.
Okuyamba ab'oluganda abagayaavu
6Era tubalagira, ab'oluganda, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mweyawulenga eri buli ow'oluganda atatambula bulungi, newakubadde mu mpisa ze baaweebwa ffe.#Mat 18:17, Bar 16:17, 1 Bas 5:14; 4:1 7Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bwe kibagwanira okutugobereranga, kubanga tetwali bagayaavu bwe twali nammwe,#Baf 3:17, 1 Bas 2:1; 1:6 8so tetulyanga mmere ya muntu yenna ya bwereere, naye mu kufuba n'okukoowa twakolanga emirimu ekiro n'emisana obutazitoowerera muntu ku mmwe;#1 Kol 4:12, 1 Bas 2:9 9si kubanga tetulina buyinza, naye tweweeyo gye muli ng'eky'okulabirako mulyoke mutugobererenga.#Mat 10:10, 1 Kol 4:16, 1 Bas 1:6,7 10Kubanga era bwe twali gye muli, twabalagira bwe tutyo nti Omuntu yenna bw'agaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.#Lub 3:19, 1 Bas 3:4; 4:11 11Kubanga tuwulira nti eriyo abamu abatatambula bulungi mu mmwe nga tebakola mirimu gyabwe n'akatono, wabula egy'abalala.#1 Bas 5:14 12Abali bwe batyo tubalagira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu Kristo, okukolanga emirimu n'obuteefu balyoke balyenga emmere yaabwe bo.#1 Bas 4:11 13Naye mmwe, ab'oluganda, temukoowanga mu kukola obulungi.#Bag 6:9 14Era omuntu yenna bw'atagonderanga kigambo kyaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegerezanga, so temwegattanga naye, ensonyi ziryoke zimukwate.#1 Kol 5:9,11 15So temumulowoozanga nga mulabe, naye mumubuuliriranga ng'ow'oluganda.#1 Bas 5:13,14
Ebisembayo
16Era Mukama waffe ow'emirembe yennyini abawenga emirembe ennaku zonna mu bigambo byonna. Mukama waffe abeerenga nammwe mwenna.#1 Bas 5:23
17Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange, ke kabonero mu bbaluwa yonna, bwe ntyo bwe mpandiika.#1 Kol 16:21 18Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.

Currently Selected:

2 Abasessaloniika 3: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for 2 Abasessaloniika 3