YouVersion Logo
Search Icon

1 Timoseewo Ennyanjula

Ennyanjula
Ebbaluwa esooka eri Timoseewo erina ensonga bbiri; okuluŋŋamya enfuga ye kkanisa, n'okuwakanya enjigiriza enkyamu nga eva mu nneyisa. Ebbaluwa zino ebbiri ziggwa mu kiti kyezo eziyitibwa ezibuulirira. Mu bye nfuga ye kkanisa eraga engeri y'okusinza 2:1-25; ebisanyizo bya balabirizi, 3:1-7, eby'abaweereza abalala 3:8-13. Ebbaluwa erabula abakulembeze be kkanisa okwegendereza abantu abakyamya era nneraga engeri zokuyisaamu abantu abenjawulo. Ebbaluwa erabula abayigiriza obutayigiriza bintu ebitazimba, era nneraga obuzibu bw'abo abakozesa eddiini okweggagawaza ate n'obuzibu obuli mu kuyayanira obugagga, erabula nabo abagaana okufumbiriganwa n'okuwasa, era ne by'okulya ebimu. Emaliriza nga eraga nti mu Katonda mwe muli amagezi amatuufu. Ebbaluwa eno yawandiikibwa Pawulo eri Timoseewo nga mu mwaka 64 AD, nga Pawulo ali Ruumi.
Ebiri mu bbaluwa
I. Okulamusa (1:1-2).
II. Enjigiriza enkyamu (1:3-20).
III. Obulamu obugoberera Enjiri (2:1—3:13).
IV. Enneyisa mu kkanisa (3:14-16).
V. Engeri y'okutegeramu enjigiriza enkyamu (4:1-5).
VI. Enjiri bweyinza okuluŋŋamya Timoseewo (4:6-16).
VII. Enjiri nga bweruŋŋamya abantu ab'enjawulo (5:1—6:2).
VIII. Okuddamu okunyweza ku njigiriza enkyamu (6:3-21).

Currently Selected:

1 Timoseewo Ennyanjula: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in