Kuba ddala kya nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abo abababonyaabonya, era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okuwummula awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika be ab'obuyinza mu muliro ogwaka.