1 Abakkolinso 2
2
Aba Kristo okufugibwa Omwoyo Omutukuvu
1Nange, ab'oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda.#1 Kol 1:17 2Kubanga nnasalawo obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa.#Bag 6:14 3Nange nnabeeranga nammwe mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi.#Bik 18:9, 2 Kol 10:1 4Era mu kwogera kwange ne mu kubuulira kwange tebyali mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, naye byali mu kulaga okw'Omwoyo n'amaanyi; 5okukkiriza kwammwe kulemenga okubeera mu magezi g'abantu, wabula mu maanyi ga Katonda.#Bef 1:17, 1 Bas 1:5
6Naye eri abo abakuze mu mwoyo, twogera eby'amagezi, naye amagezi agatali ga mu mulembe guno, oba ag'abafuzi ab'omu mulembe guno abaggwaawo. #Baf 3:15 7naye twogera amagezi ga Katonda ag'ekyama, agali gakwekeddwa, Katonda ge yalagira edda ensi nga tezinnabaawo olw'ekitiibwa kyaffe.#Bar 16:25 8Tewali n'omu ku bafuzi ab'omu mulembe guno abaagategeera, kuba singa baagategeera, tebandikomeredde Mukama ow'ekitiibwa. 9naye nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Eriiso bye litalabangako,
n'okutu bye kutawuliranga,
N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu,
Byonna Katonda bye yategekera abamwagala.”#Is 64:4
10Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda.#Mat 13:11, Nge 20:27 11Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? Era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda. 12Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwa.#Yok 16:13,14 13N'okwogera twogera ebyo, si mu bigambo amagezi g'abantu bye gayigiriza, wabula Omwoyo by'ayigiriza; bwe tugeraageranya eby'omwoyo n'eby'omwoyo.#1 Kol 2:1,4 14Naye omuntu ow'omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda, kubanga bya busirusiru gy'ali; era tayinza kubitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo.#Yok 8:47; 14:17 15Naye omuntu ow'Omwoyo akebera byonna, naye ye yennyini takeberwa muntu yenna.#1 Yok 2:20 16Kubanga, “ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama waffe, alyoke amuyigirize?” Naye ffe tulina endowooza ya Kristo.#Bar 11:34, Is 40:13
Currently Selected:
1 Abakkolinso 2: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.