1 Abakkolinso 3
3
Abakyali mu by'omubiri tebafugibwa Mwoyo
1Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo.#Yok 16:12 2Nnabanywesa mata, so si mmere; kubanga mwali temunnagiyinza; naye era ne kaakano temunnagiyinza;#1 Peet 2:2, Beb 5:12,13 3kubanga mukyali ba mubiri, kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu?#1 Kol 1:10-12; 11:18 4Kubanga omuntu bw'ayogera nti, “Nze ndi wa Pawulo;” n'omulala nti, “Nze ndi wa Apolo;” nga temuli bantu buntu? 5Kale Apolo kye ki? ne Pawulo kye ki? Baweereza buweereza ababakkirizisa; era buli muntu nga Mukama waffe bwe yamuwa.#Bik 18:24,27 6Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza.#Bik 18:4,11 7Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza. 8Naye asiga n'afukirira benkanankana, naye buli muntu aliweebwa empeera okusinziira ku mulimu gw'aliba yakola. 9Kubanga ffe tukolera wamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.#Mat 13:3-9, Bef 2:20
10Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omuzimbi omukugu ow'amagezi n'asima omusingi, naye kaakano omulala aguzimbako. Naye buli muntu yeegenderezenga bw'aguzimbako. #1 Kol 15:10, 2 Peet 3:15 11Kubanga tewali muntu ayinza kuteekawo musingi mulala wabula ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo.#1 Peet 2:4-6 12Naye omuntu yenna bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo omungi, emiti, essubi, ebisasiro; 13omulimu ogwa buli muntu gulirabibwa, kubanga ku lunaku luli omuliro guligwolesa, n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana.#1 Kol 4:5, 2 Bas 1:8 14Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulisigalawo, aliweebwa empeera. 15Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro.
16Temumanyi nga muli Yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe?#1 Kol 6:19, 2 Kol 6:16 17Omuntu yenna bw'azikirizanga Yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe.
18Omuntu yenna teyeerimbanga. Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi.#Kub 3:17,18 19Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.” #Yob 5:12,13 20Era nate nti Mukama ategeera empaka ez'abagezi nga teziriimu.#Zab 94:11 21Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu. Kubanga byonna byammwe; 22oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo; byonna byammwe; 23nammwe muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda.
Currently Selected:
1 Abakkolinso 3: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.