1
MARIKO 2:17
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Yesu bwe yawulira kye babuuza, ye yennyini n'abaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Abalungi si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
Compare
Explore MARIKO 2:17
2
MARIKO 2:5
Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n'agamba akonvubye nti: “Mwana wange, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
Explore MARIKO 2:5
3
MARIKO 2:27
Awo Yesu n'agamba Abafarisaayo nti: “Olunaku lwa Sabbaato lwassibwawo lwa bulungi bwa muntu, sso omuntu teyatonderwa Sabbaato.
Explore MARIKO 2:27
4
MARIKO 2:4
Bwe baalemwa okumutuusa awali Yesu, olw'obungi bw'abantu, ne basereekulula ekitundu ky'akasolya k'ennyumba Yesu mwe yali, ne bayisa omulwadde mu mwagaanya ogwo, ng'agalamidde ku katanda kwe baamuleetera.
Explore MARIKO 2:4
5
MARIKO 2:10-11
Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti: “Yimirira. Weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.”
Explore MARIKO 2:10-11
6
MARIKO 2:9
Ekisingako obwangu kye kiruwa, okugamba akonvubye nti: ‘Ebibi byo mbikusonyiye,’ oba nti: ‘Yimirira, weetikke akatanda ko, otambule?’
Explore MARIKO 2:9
7
MARIKO 2:12
Amangwago, omusajja n'ayimirira, bonna nga balaba, n'asitula akatanda ke, n'atambula. Bonna ne bawuniikirira, ne batendereza Katonda, ne bagamba nti: “Kino tetukirabangako!”
Explore MARIKO 2:12