Ekigambo kya Kristo, mu bugagga bwakyo bwonna, kibeerenga mu mitima gyammwe. Muyigirizaganenga era mubuuliriraganenga mu magezi gonna. Nga mujjudde okwebaza mu mitima gyammwe, Katonda mumuyimbire zabbuli, n'ennyimba, n'ebiyiiye, Mwoyo by'abasobozesa okuyiiya.
Buli kintu kye mwogera oba kye mukola, mukikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.