1
ABAKOLOSAAYI 2:6-7
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mwegatte wamu naye mu bulamu bwammwe. Munywerere ddala mu ye, era mukulire mu ye, nga muli banywevu mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, era temukoowanga kwebaza.
Compare
Explore ABAKOLOSAAYI 2:6-7
2
ABAKOLOSAAYI 2:8
Mwekuumenga waleme kubaawo ababuzaabuza, n'abafuula abaddu, ng'akozesa ebigambo eby'amagezi ag'abantu obuntu agataliimu nsa, era ag'obulimba, abantu ge bayigiriza, nga bageesigamya ku buyinza bw'emisambwa, sso si ku Kristo.
Explore ABAKOLOSAAYI 2:8
3
ABAKOLOSAAYI 2:13-14
Nammwe abaali bafudde olw'ebibi byammwe n'olw'obutakomolebwa bwammwe mu mubiri, Katonda yabafuula balamu wamu ne Kristo, bwe yatusonyiwa ebibi byaffe byonna. Yasazaamu era n'aggyawo endagaano eyatuwalirizanga okutuukiriza ebyo amateeka g'Ekiyudaaya bye galagira, n'agikomerera ku musaalaba.
Explore ABAKOLOSAAYI 2:13-14
4
ABAKOLOSAAYI 2:9-10
Ddala mu Kristo, obwakatonda bwonna mwe buli. Era ye akulira abafuzi n'ab'obuyinza bonna. Nammwe mu ye mwe mwafunira obulamu obujjuvu
Explore ABAKOLOSAAYI 2:9-10
5
ABAKOLOSAAYI 2:16-17
Kale tewabangawo abanenya olw'ebyo ebifa ku byokulya ne ku byokunywa, oba olw'ebyo ebikwata ku nnaku enkulu, ne ku kuboneka kw'omwezi, wadde ku nnaku za Sabbaato. Ebyo byonna kifaananyi bifaananyi eky'ebyo ebigenda okujja. Naye ekirimu ensa ye Kristo.
Explore ABAKOLOSAAYI 2:16-17