1
2 TIMOTEEWO 2:15
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Fubanga okusiimibwa Katonda, ng'oli mukozi akola ebitakuswaza, era yigirizanga bulungi ekigambo eky'amazima.
Compare
Explore 2 TIMOTEEWO 2:15
2
2 TIMOTEEWO 2:22
N'olwekyo weewalenga okwegomba okubi okw'ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, okukkiriza, okwagalana era n'emirembe, ng'oli wamu n'abo abeegayirira Mukama.
Explore 2 TIMOTEEWO 2:22
3
2 TIMOTEEWO 2:24
Omuweereza wa Mukama tasaana kuyomba, wabula okuba ow'ekisa eri buli muntu, n'okuba omuyigiriza omulungi, agumiikiriza
Explore 2 TIMOTEEWO 2:24
4
2 TIMOTEEWO 2:13
Bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa, kubanga tayinza kwewakanya.”
Explore 2 TIMOTEEWO 2:13
5
2 TIMOTEEWO 2:25
era ng'aluŋŋamya n'obwetoowaze abo abamuwakanya, osanga Katonda abawa okwenenya, ne bamanya amazima
Explore 2 TIMOTEEWO 2:25
6
2 TIMOTEEWO 2:16
Weewalenga ebigambo ebitassaamu Katonda kitiibwa, era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi kunyooma Katonda.
Explore 2 TIMOTEEWO 2:16