1
2 TIMOTEEWO 1:7
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Mwoyo Katonda gwe yatuwa, tatufuula bati, wabula atujjuza amaanyi, n'okwagala n'okwegenderezanga.
Compare
Explore 2 TIMOTEEWO 1:7
2
2 TIMOTEEWO 1:9
eyatulokola, n'atuyita tube ababe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku ebyo bye twakola, wabula ng'asinziira ku kuteesa kwe ne ku kisa kye, kye yatukwatirwa ng'ayita mu Yesu Kristo okuva edda n'edda lyonna.
Explore 2 TIMOTEEWO 1:9
3
2 TIMOTEEWO 1:6
kyenva nkujjukiza okuseesanga omuliro gw'ekirabo ekiri mu ggwe, Katonda kye yakuwa bwe nakussaako emikono gyange.
Explore 2 TIMOTEEWO 1:6
4
2 TIMOTEEWO 1:8
N'olwekyo tokwatibwanga nsonyi okwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we; wabula naawe bonaabona olw'Amawulire Amalungi, ng'oyambibwa amaanyi ga Katonda
Explore 2 TIMOTEEWO 1:8
5
2 TIMOTEEWO 1:12
era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa, okutuusa ku lunaku luli.
Explore 2 TIMOTEEWO 1:12