Bible App logo
Search Icon

2 TIMOTEEWO 2

2
Omuserikale omwesigwa owa Kristo
1Kale mwana wange, nywera ng'oyambibwa amaanyi Kristo Yesu g'atuwa. 2Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g'abajulirwa abangi, biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala.
3Naawe bonaabona ng'omuserikale omulungi owa Kristo Yesu. 4Tewali muserikale ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana egy'abantu abaabulijjo, kubanga ekiba kimuli ku mutima, kwe kusanyusa oyo eyamuwandiika okuba omuserikale. 5Oyo eyeetaba mu mizannyo gy'empaka, taweebwa ngule ya buwanguzi bw'atagoberera biragiro. 6Omulimi eyategana asaanira okusooka okufuna ku bibala. 7Lowooza ku kye ŋŋamba, Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna.
8Jjukira nti Yesu Kristo, omuzzukulu wa Dawudi yazuukira, ng'Amawulire Amalungi ge ntegeeza abantu bwe gagamba. 9Olw'Amawulire ago Amalungi kyenva mbonaabona, ne nsibibwa ng'omukozi w'ebibi. Naye ekigambo kya Katonda tekisibiddwa. 10Kyenva ŋŋumira byonna olw'abalondemu ba Katonda, balyoke bafune okulokolebwa, n'ekitiibwa ekitaggwaawo, ebiri mu Yesu Kristo. 11Ekigambo kino kya mazima ekigamba nti:
“Oba nga twafiira wamu naye,
era tulibeera balamu wamu naye.
12Bwe tugumiikiriza awamu naye,
era tulifugira wamu naye.
Bwe tumwegaana,
era naye alitwegaana.#Laba ne Mat 10:33; Luk 12:9
13Bwe tutaba beesigwa,
ye aba mwesigwa,
kubanga tayinza kwewakanya.”
Omukozi asiimibwa Katonda
14Ebyo obijjukizenga abantu bo ng'obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutaliimu mugaso, okwonoona abo abawuliriza. 15Fubanga okusiimibwa Katonda, ng'oli mukozi akola ebitakuswaza, era yigirizanga bulungi ekigambo eky'amazima. 16Weewalenga ebigambo ebitassaamu Katonda kitiibwa, era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi kunyooma Katonda. 17Era ebigambo byabwe birirya nga kookolo. Mu abo mwe muli Yimenaayo ne Fileeto, 18abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda. Era waliwo abamu be boonoonedde okukkiriza kwabwe. 19Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era guliko akabonero, bye bigambo ebigamba nti: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama, ave mu bibi.”#Laba ne Kubal 16:5
20Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye mubaamu n'eby'emiti, era n'eby'ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egyekitiibwa, n'ebirala egitali gyakitiibwa. 21Buli eyeewala ebibi ebyo byonna, ye anaabanga ekintu ekyekitiibwa, ekitukuziddwa, ekisaanira buli mulimu omulungi.
22N'olwekyo weewalenga okwegomba okubi okw'ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, okukkiriza, okwagalana era n'emirembe, ng'oli wamu n'abo abeegayirira Mukama. 23Weewalenga empaka ez'obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu nnyombo. 24Omuweereza wa Mukama tasaana kuyomba, wabula okuba ow'ekisa eri buli muntu, n'okuba omuyigiriza omulungi, agumiikiriza, 25era ng'aluŋŋamya n'obwetoowaze abo abamuwakanya, osanga Katonda abawa okwenenya, ne bamanya amazima, 26ne bava mu mutego gwa Sitaani gw'abakwasisizza, abakozese by'ayagala.

Currently Selected:

2 TIMOTEEWO 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in