Katonda gwe yassaawo okuba omutango, olw'okukkiriza omusaayi gwe, okulaga obutuukirivu bwe, olw'okuleka ebibi ebyakolebwanga edda, Katonda ng'agumiikiriza; okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino: alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu akkiriza Yesu.