1
Okubala 21:8
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Mukama n'agamba Musa nti Weekolere omusota ogw'omuliro, oguteeke ku mulongooti: awo olunaatuuka, buli alumiddwa bw'anaagulaba, anaaba mulamu.
Compare
Explore Okubala 21:8
2
Okubala 21:9
Musa n'akola omusota ogw'ekikomo, n'aguteeka ku mulongooti: awo olwatuuka omusota bwe gwabanga gulumye omuntu yenna, bwe yatunuulira omusota ogw'ekikomo, n'aba mulamu.
Explore Okubala 21:9
3
Okubala 21:5
Abantu ne boogera bubi ku Katonda ne ku Musa, nti Mwatuggira ki mu Misiri okutulinnyisa okufiira mu ddungu? kubanga tewali kyakulya, so tewali mazzi; n'obulamu bwaffe butamiddwa ekyokulya kino ekyangu.
Explore Okubala 21:5
4
Okubala 21:6
Mukama n'asindikira abantu emisota egy'omuliro, ne giruma abantu; abantu bangi ne bafa ku Isiraeri.
Explore Okubala 21:6
5
Okubala 21:7
Abantu ne bajja eri Musa ne bagamba nti Twonoonye kubanga twayogera obubi ku Mukama ne ku ggwe; saba Mukama atuggyeko emisota. Musa n'asabira abantu.
Explore Okubala 21:7