N'omuwendo ogw'amatoffaali, gwe baakola edda, mugubasalire; muleme okugukendeezaako n'akatono: kubanga bagayaala; kyebava bakaaba nga boogera nti Leka tugende tuweeyo saddaaka eri Katonda waffe. Emirimu emizibu gisalirwe abasajja bagikole; baleme okuwulira ebigambo eby'obulimba.