Nteeka etteeka, mu matwale gonna ag'obwakabaka bwange abantu bakankanenga batyenga mu maaso ga Katonda wa Danyeri: kubanga oyo ye Katonda omulamu, era omunywevu emirembe gyonna, n'obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa n'okufuga kwe kulituukira ddala ku nkomerero: awonya era alokola, era akola obubonero n'eby'amagero mu ggulu ne mu nsi: eyawonya Danyeri eri amaanyi g'empologoma.