naye weegulumiza eri Mukama w'eggulu: ne baleeta ebintu eby'omu nnyumba ye mu maaso go, naawe n'abaami bo, abakyala bo n'abazaana bo, ne mubinywesa omwenge: n'otendereza bakatonda aba ffeeza, n'aba zaabu, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja, abatalaba, so tebawulira, so tebategeera: ne Katonda oyo alina omukka gwo mu mukono gwe, era nannyini makubo go gonna, tomuwa kitiibwa