1
Engero 10:22
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, So tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.
Compare
Explore Engero 10:22
2
Engero 10:19
Mu kwogera ebigambo ebingi, temubulamu kusobya; Naye oyo asirika, aba omugezi.
Explore Engero 10:19
3
Engero 10:12
Obukyayi buleeta ennyombo; Naye okwagala kubikka ku byonoono byonna.
Explore Engero 10:12
4
Engero 10:4
Emikono eminafu gireetera nnyinigyo obwavu; Naye Emikono gy'omunyiikivu, gimuleetera obugagga bungi.
Explore Engero 10:4
5
Engero 10:17
Oyo ali mu kkubo ery'obulamu assaayo omwoyo eri okubuulirirwa: Naye oyo aleka okunenyezebwa awaba.
Explore Engero 10:17
6
Engero 10:9
Omuntu atambulira mu bugolokofu, aba n'emirembe, Naye omukumpanya, alimanyibwa.
Explore Engero 10:9
7
Engero 10:27
Okutya Mukama kuwangaaza: Naye emyaka gy'ababi, girisalibwako.
Explore Engero 10:27
8
Engero 10:3
Mukama taalekenga muntu mutuukirivu kufa njala; Naye ababi abaziyiza okufuna bye beegomba.
Explore Engero 10:3
9
Engero 10:25
Kibuyaga bw'akunta, omubi nga takyaliwo, Naye omutuukirivu alinywezebwa emirembe gyonna.
Explore Engero 10:25