Isaaya 57:15-16
Isaaya 57:15-16 LBR
Kubanga bw'atyo bw'ayogera oyo ali waggulu omugulumivu atuula mu butaliggwaawo, erinnya lye Mutukuvu, nti, “ Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu, era wamu n'oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu, okulamya omwoyo gw'abakkakkamu, n'okulamya omutima gw'abo ababoneredde. Kubanga siriwakana ennaku zonna, so sirisunguwala emirembe gyonna: kubanga omwoyo gwandiggweereddewo mu maaso gange, n'emmeeme ze nnakola.





