alanga enkomerero okuva ku lubereberye,
n'ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby'edda;
ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera
era ndikola bye njagala byonna;
ayita ennyonyi ey'amaddu okuva ebuvanjuba,
omusajja ow'okuteesa kwange okuva mu nsi ey'ewala;
weewaawo, n'ayogera, n'okutuukiriza ndikituukiriza;
n'ateesa, n'okukola ndikikola.