Bwe baatuuka e Maala, ne batayinza kunywa ku mazzi gaayo, kubanga gaali gakaawa; Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Maala. Abantu ne beemulugunyiza Musa, nga boogera nti, “Tunaanywa ki?” Musa n'akaabirira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabaweera etteeka n'ebiragiro, n'abagereza eyo.