رفتن به محتوا

TOBIITI 3

3
Tobiiti asaba Katonda
1Nasoberwa ne nswala, ne nennyamira, ne ntandika okukaaba. Ne nsaba Katonda bwe nti:
2“Oli mwenkanya, ayi Mukama,
mu byonna by'okola oli mutuufu,
wa kisa era mwesigwa.
Ggwe Mulamuzi w'ensi eno.
3Kaakati ayi Mukama
nkwegayiridde onkwatirwe ekisa,
oleme kumbonereza lwa bibi byange
n'olw'ensobi zange n'eza bajjajjange
abaasobya mu maaso go,
ne bajeemera ebiragiro byo.
4Kyewava otuleka tunyagibwe
tutwalibwe mu busibe era tuttibwe.
Ne tufuuka ekyokulabirako
eky'okusekererwa n'okunyoomebwa
mu b'amawanga amalala
mwe watusaasaanyiza.
5Oli mutuufu okumbonereza
olw'ebibi byange n'ebya bajjajjange,
kubanga tetwakwata biragiro byo,
tetwagoberera by'otuluŋŋamyamu.
6Kale n'olwekyo mpisa nga bw'oyagala.
Twala obulamu bwange
omponye ensi eno.
Omubiri gwange guddeyo
mu ttaka gye gwava,
kubanga kaakati okufa
kunsingira okuba omulamu.
Nkooye okuvumirwa obwereere.
Nfudde nze ennaku!
Lagira ayi Mukama mpone obuyinike,
ontwale mu kiwummulo ekyolubeerera.
Kye nkusaba leka kukinyooma.”
Obuyinike bwa Saara
7Ku lunaku olwo lwe lumu, ne Saara muwala wa Ragweli ow'e Ekubatana mu Mediya, n'avumibwa omu ku bawala abaweereza ba kitaawe. 8Saara yali afumbiddwako emirundi musanvu. Naye omwoyo omubi Asimodewo, gwattanga buli omu ku babba nga tebannatabagana naye. Awo omuwala omuweereza n'agamba Saara nti: “Laba ggwe nyaabula, omussi w'abasajja! Waakafuna babalo musanvu mulamba. Naye ku bonna tekuli n'omu yalama kusanyukako naawe. 9Lwaki otubonyaabonya? Bw'ogenda nno naawe ne weegatta ku babalo abaafa, waleme kubaawo aliraba ku mwana gw'ozadde!”
10Saara n'anakuwala nnyo, n'atulika n'akaaba amaziga. N'ayambuka waggulu mu nnyumba, ng'amaliridde okwetuga. Naye bwe yeerowooza, n'agamba mu mutima gwe nti: “Nedda, sijja kwetuga. Singa nkikola, nja kuvumisanga kitange ng'abantu bagamba nti: ‘Walina omwana omu bw'ati nga muwala, ne yeetuga olw'okunakuwala.’ Okuleetera kitange omukadde obulumi ng'obwo kuliba kumuyingiza mu ntaana. Mu kifo ky'okwetta, ka nsabe Mukama andeke nfe, nneme kwongera kuwulira bivumo ebyo.”
Saara asaba Katonda
11Awo Saara n'ayimirira kumpi n'eddirisa, n'ayimusa emikono gye ng'asaba Katonda, n'agamba nti:
“Otenderezebwe ggwe, ayi Katonda wange.
Erinnya lyo litenderezebwe emirembe gyonna.
Ebitonde byo bikutenderezenga bulijjo.
12Kaakano ayi Mukama, ntunuulidde ggwe onnyambe.
13Lagira ayi Mukama, nve mu bulamu buno,
nneme okwongera okuwulira ebivumo bino.
14Ayi Mukama, omanyi nga nkyali mbeerera,
sibeerangako na musajja.
15Seeyonoonanga, wadde okwonoona erinnya lya kitange,
bukya mbeera mu nsi gye twawaŋŋangukira.
Kitange talina mwana mulala wa kumusikira
era tewali waaluganda gwe nnyinza kufumbirwa.
Nafiirwa dda abasajja musanvu mulamba.
Kale mbeerera ki omulamu?
Naye oba nga toyagala kutwala bulamu bwange,
waakiri ndaga ekisa kyo,
nneme kuddamu kuwulira bivumo ebyo.”
Katonda awulira Tobiiti ne Saara bye bamusaba
16Tobiiti ne Saara bwe baali nga basaba, mu ggulu Katonda n'awulira bye bamusaba. 17N'atuma malayika we Rafayeeli okubayamba. Yamutuma okuggya olububi olweru ku maaso ga Tobiiti, asobole okuddamu okulaba. Era yamutuma okutegekera Saara muwala wa Ragweli okufumbiriganwa ne Tobiya mutabani wa Tobiiti, eyali agwanidde okumuwasa nga bwe baali baaluganda. Rafayeeli era yatumibwa okugoba ku Saara omwoyo omubi Asimodewo. Mu kiseera kyennyini Tobiiti kye yaviiramu mu nnyumba ye, ne Saara kye yakkiriramu ku madaala g'ennyumba y'ewaabwe mu Ekubatana.#Laba ne Kubal 36:6-9; Tob 6:10-12