TOBIITI 2
2
Embaga mu maka
1Bwe nakomawo e Nineeve, ne nziramu okubeera ne mukazi wange Anna era n'omwana wange Tobiya. Ku Mbaga ey'Amakungula era eyitibwa Embaga ey'Ennaku Amakumi Ataano, baali bantegekedde ekyemisana ekinyuvu, ne ntuula okulya.#Laba ne Kuv 23:16 2Bwe nalaba ng'emmere nnyingi ku lujjuliro, ne ŋŋamba mutabani wange Tobiya nti: “Mwana wange, genda onoonyeeyo Muyudaaya munnaffe omwavu ali wano e Nineeve mu buwaŋŋanguse era eyanywerera ku Katonda, omuleete wano, ajje alye ku kijjulo kino wamu naffe. Okutandika okulya, nja kukulinda omale kudda.”
3Awo Tobiya n'agenda okunoonya omuntu gw'anaaleeta awaka. Kyokka n'akomawo amangwago ng'aleekaana nti: “Taata, Taata!” Ne nziramu nti: “Kiki mwana wange?” N'agamba nti: “Omu ku b'eggwanga lyaffe baakamala okumutemula. Bamutuze ne bamusuula mu luggya lw'akatale.”
4Nasituka busitusi, emmere ne ngireka awo nga sigikuttenako, ne nzigyayo omulambo ogwo ne ngukweka mu kasiisira okutuusa enjuba okugwa, nsobole okuguziika. 5Bwe nadda awaka ne nnaaba, ne ndyoka ndya emmere yange nga ndi munakuwavu nnyo. Ne nzijukira omulanzi Amosi kye yagamba ab'e Beteli nti:#Laba ne Kubal 19:11-13
6“Embaga zammwe zirifuuka okukungubaga,
n'ennyimba zammwe ez'essanyu
zirifuuka emiranga”,
ne nkaaba amaziga.#Laba ne Am 8:10
7Enjuba bwe yagwa ne ŋŋenda ne nsima entaana ne nziika omufu. 8Baliraanwa bange bampita mulalu, ne bagamba nti: “Era toyiganga? Baali bakuyigga okukutta lwa kuziika bafu. Ekyakuwonya kudduka. Kati olukomyewo era ky'okola?”
Tobiiti aziba amaaso
9Ekiro ekyo bwe namala okunaaba ne ntukula, ne ŋŋenda okugalamirako mu luggya okumpi n'ekisenge. Ne seebikkako ku maaso, kubanga ebbugumu lyali lingi. 10Nali simanyi nti mu kifo ekyo waliwo obutaayi waggulu. Kalimbwe waabwo akyabuguma n'angwa ku maaso, ne gakwata olububi olweru. Ne neewuubanga mu basawo. Naye gye baakomya okunzijanjabyanga eddagala lyabwe, n'amaaso gye gaakomya okuba obubi, okutuusa lwe nafuukira ddala muzibe.
Emyaka ena nga sirabirako ddala. Embeera yange ne yeeraliikiriza baganda bange. Ahikari n'andabirira emyaka ebiri okutuusa lwe yalaga mu nsi y'e Elamu.
Oluyombo mu maka
11Olwo mukazi wange Anna n'ateekwanga okukola. N'akwata gwa kutunganga ngoye, abakazi bangi gwe bakola. 12Abantu baamusasulanga ng'abawadde engoye z'amaze okubatungira. Waaliwo olumu be yatungira, ne bamusasula era ne bamuwaayo embuzi.
13Anna bwe yatuusa embuzi awaka, n'ekaaba. Ne mmuyita ne mmubuuza nti: “Embuzi eyo evudde wa? Teba enzibe! Giddize bannyiniyo. Tekiba kituufu okulya ebibbe.” 14N'anziramu nti: “Be nakoledde ne bansasula, be bagimpadde ng'ekirabo.” Naye nze ne sikkiriza, ne mmugamba agiddize bannyiniyo nga bwe mmunenya. Ye kwe kunziramu nti: “Ddala ndabye bw'ofaanana. Ebirungi bye wakolera abalala biruwa? Kati bonna bamanyi kye byakugasa!”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.