رفتن به محتوا

TOBIITI 4

4
Tobiiti abuulirira Tobiya
1Ku lunaku olwo lwennyini, Tobiiti n'ajjukira ensimbi ze yateresa Gabayeeli e Raagesi mu Mediya. 2N'agamba mu mutima gwe nti: “Nga bwe neesabidde okufa, kisaanye okuyita omwana wange Tobiya mmubuulire ensimbi ezo nga sinnafa.”
3Awo n'ayita Tobiya n'amugamba nti: “Mwana wange, bwe nfa, laba nti onziika mu ngeri esaanidde. Nga nvuddewo, ossangamu nnyoko ekitiibwa, era tomwabuliranga obulamu bwe bwonna. Omukoleranga ekinaamusanyusa, n'otomunakuwaza mulundi na gumu. 4Jjukira mwana wange, nga nnyoko yayita mu bizibu bingi okukuzaala. Bw'afanga, omuziikanga kumpi nange.
5“Buli lunaku ojjukiranga Mukama Katonda waffe. Tokolanga kibi ng'ogenderedde, era tojeemeranga biragiro bye. Bulijjo okolanga ekirungi era teweetabanga mu kukola kibi. 6Beeranga mwesimbu, onoofunanga omukisa mu by'okola.
7“Ogabanga ku bibyo, era togaananga kuyamba munaku, ne Mukama taalemenga kukuyamba mu bye weetaaga.#Laba ne Ma 15:7-8; Nge 19:17; Sir 3:30–4:6; 1 Yow 3:17 8Ogabanga ng'olabira ku by'olina. Bw'obanga n'ebingi, ogabanga bingi, bw'obanga n'ebitono, era ogabanga ku bitono ebyo nga totya. 9Olwo oliba weeterekedde ekirikuyamba ng'oli mu bwetaavu, 10kubanga okuyamba abanaku kuwonya okufa n'okuyingira ekizikiza. 11Ddala buli ayamba omunaku aba awadde ekirabo ekisiimibwa Katonda mu ggulu.
12“Mwana wange, weewalenga abakazi bamalaaya. N'okusookera ddala owasanga omukazi ow'olulyo lwaffe, kubanga tuli ba lulyo lwa balanzi. Towasanga atali wa lulyo lwaffe. Jjukira nga Noowa, Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo bajjajjaffe ab'edda, bonna baawasa ba lulyo lwabwe. Katonda yabawa omukisa ne bazaala abaana, era bazzukulu baabwe, ensi ya Yisirayeli eriba yaabwe. 13Naawe, mwana wange, oteekwa okwagala ab'olulyo lwo, n'otobanyooma. Mu bo mw'oba olonda gw'oliwasa kubanga okwekuza n'obanyooma kuvaamu emitawaana n'okuzikirira, ng'obunafu bwe buleeta obwavu n'okufa enjala.
14“Omusaala gw'abakozi bo tolwangawo ng'okyagulemedde, naye ogubasasulanga mangu. Ossangamu Katonda ekitiibwa mu ngeri eyo, olwo naye talirema kukuweera. Mwana wange, weegenderezenga mu byonna by'okola, era beeranga wa mpisa nnungi. 15Ky'otoyagala bakukole, naawe tokikolanga mulala.
“Tonywanga mwenge okutuuka okutamiira. Era okutamiira tokufuulanga mpisa yo.#Laba ne Mat 7:12; Luk 6:31
16“Abayala obawanga ku mmere yo, n'abatalina kye bambala obawanga ku ngoye zo. Bw'ofunanga ebingi, era ogabanga bingi, era ogabanga osanyuka.
17“Omuntu anyweredde ku Katonda bw'afanga, owangayo emmere mu lumbe lwe, naye tokikolanga ng'omwonoonyi ye afudde.#Laba ne Ma 26:14
18“Okkirizanga okubuulirirwa omuntu ow'amagezi, era tonyoomanga kubuulirwa okw'omugaso.
19“Mukama Katonda omutenderezanga mu buli kimu, era omusabanga akuluŋŋamye era akuwe omukisa mu buli ky'okola. Si bantu bonna ababa n'amagezi. Mukama ye agaba buli kirungi. Ate bw'aba ayagadde, ayinza okutoowaza abantu nga bw'ayagala, n'okubatuusiza ddala ku kufa.
“Kale mwana wange, jjukiranga bye nkubuuliridde, era tobyerabiranga n'akatono. 20Kaakano njagala omanye nti Gabayeeli, mutabani wa Gabriya e Raagesi mu Mediya, namuteresa ensimbi nnyingi. 21Kaakati tuli baavu, naye totya. Bw'onossangamu Katonda ekitiibwa, ne weewala ekibi, alikusiima, era oliba mugagga.”#Laba ne 1 Tim 6:6-8