ENGERO 9
9
Embaga y'amagezi
1Amagezi gazimbye
ennyumba yaago,
ne gagikolera
empagi musanvu.
2Gasse ensolo zaago,
gayiisizza omwenge
era gategese olujjuliro.
3Gasindise
abawala baago abaweereza,
bagende mu bifo by'ekibuga,
ebisinga obugulumivu
balangirire nti:
4“Buli mubuyabuya,
ayingire muno!”
N'atali mugezi
gamugamba nti:
5“Jjangu olye ku mmere
gye nfumbye,
onywe ne ku mwenge
gwe njiisizza.
6Vva mu batalina magezi,
lw'oliwangaala.
Tambuliranga
wamu n'abategeevu.”
7Buli anenya omwepansi,
yeereetera okuvumibwa;
n'oyo abuulirira omubi,
yeerumya yekka.
8Tobuuliriranga mwepansi,
aleme okukukyawa.
Buuliriranga ow'amagezi,
anaakwagalanga.
9Bw'oyigiriza omugezi,
yeeyongera kuba wa magezi.
Bw'oyigiriza omuntu omulungi,
yeeyongera okuyiga.
10Mu kutya Mukama,
amagezi mwe gasookera,
n'okugondera Oyo Omutuukirivu,
kwe kuba omutegeevu.#Laba ne Yob 28:28; Zab 111:10; Nge 1:7
11Okuba n'amagezi
kyongera ku bungi bw'emyaka
omuntu gy'awangaala,
12Kigasa ggwe okuba n'amagezi.
Bw'oganyooma, weerumya wekka.
13Omukazi omusirusiru, aleekaana.
Talina magezi,
era taliiko ky'amanyi
14Atuula ku mulyango gw'ennyumba ye,
ku katebe mu bifo ebigulumivu
eby'omu kibuga,
15n'akoowoola abayitawo,
abali ku ŋŋendo zaabwe nti:
16“Buli omubuyabuya, ajje wano.”
N'agamba n'oyo
atali mutegeevu nti:
17“Amazzi amabbe
ge gawooma okunywa,
n'emmere eriirwa mu nkukutu,
ye esanyusa.”
18Naye abo b'agamba tebamanyi
ng'abayingira omumwe,
bafiiramu;
nga n'abagenyi be,
bali magombe!
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.