ENGERO 8
8
Okutendereza amagezi
1Amagezi gakoowoolera,
n'okutegeera kuleekaanira#Laba ne Nge 1:20-21
2ku butunnumba okumpi n'ekkubo,
mu masaŋŋanzira g'enguudo.
3Galeekaanira ku miryango
awayingirirwa mu kibuga nti:
4“Mmwe abantu, mbakoowoola,
buli ali ku nsi mmuyita.
5Mmwe ababuyabuya,
muyige okwegendereza.
Nammwe abasirusiru,
mufube okuba abategeevu.
6Muwulire bye njogera
ebirungi ebiyitirivu.
Byonna bye mbabuulira nze,
bituufu.
7Byenjogera bya mazima,
era sikolagana na bulimba.
8Njogera bituufu byereere,
temuli kikyamu
wadde ekikyukakyuka.
9Byanguyira omutegeevu,
era bitangaavu
ku alina obumanyirivu.
10Mwagale bye njigiriza
okusinga ffeeza,
era mwagale okumanya
okusinga zaabu omuyooyoote,
11kubanga amagezi gasinga nnyo
amayinja ag'omuwendo.
Tewali na kye weegomba ekyo,
ky'oyinza kugeraageranya nago.
12“Ayogera ye nze Amagezi.
Nsangibwa mu bwegendereza.
Mu kusala obulungi ensonga,
mwe njoleseza okutegeera.
13Okutya Mukama, kwe kukyawa ebibi.
Nkyawa okwekuza n'okwepanka,
n'empisa embi,
n'eby'obulimba.
14Mbuulirira bulungi
ne mpa amagezi amatuufu.
Ntegeera, era nnina amaanyi.
15Nnyamba bakabaka okufuga,
n'abafuzi okuteeka
amateeka amalungi.
16Buli mufuzi ku nsi,
nze mmuyamba okufuga,
k'abe mukungu,
k'abe mulamuzi.
17Abanjagala nange be njagala,
era nzuulibwa abo,
abanyiikira okunnoonya.
18Nnina obugagga n'ekitiibwa,
obugagga obutuufu
era obwenkalakkalira.
19Kye ngaba kisinga zaabu
asingira ddala obulungi,
kisinga ffeeza omuyooyoote.
20Amazima lye kkubo lyange,
nkolera ku bwenkanya bwereere.
21Abanjagala mbawa obugagga,
ne nzijuza amawanika gaabwe.
22“Mukama ng'atonda,
yasookera ku nze.
Ndi mulimu gwe ogw'edda,
ogw'olubereberye.#Laba ne Kub 3:14
23Nateekebwawo kuva dda.
Naliwo okuva olubereberye,
ng'ensi tennaba na kubaawo.
24Najja tewannabaawo nnyanja,
wadde ensulo ezireeta amazzi;
25ensozi zaali tezinnassibwawo,
n'obusozi nabusookawo.
26Katonda yali tannatonda nsi,
na kuteekawo nnimiro,
wadde enfuufu embereberye.
27Bwe yali abamba eggulu,
naliwo,
era ng'assaawo enkulungo
ku nnyanja.
28Bwe yawanika ebire mu bbanga,
n'aggulira ensulo
eziri mu nnyanja,
29bwe yakugira ennyanja,
amayengo galemenga
okubuuka ensalo zaayo,
n'assaawo emisingi gy'ensi,
30namuli ku lusegere
ng'akaana ke akato,
nga nze ndabirira omulimu.
Era yansanyukiranga bulijjo,
nga ndigitira w'ali,
31nga nsanyukira
mu nsi ye n'ebigirimu,
ng'essanyu lyange
kwe kubeera wamu n'abantu.
32“Kale nno baana bange,
muwulirize bye ŋŋamba,
kubanga balina omukisa
abakwata bye mbabuulirira.
33Muwulirizenga ebibayigirizibwa,
mubenga n'amagezi;
era amagezi,
temugagayaaliriranga.
34Wa mukisa oyo
awuliriza bye ŋŋamba,
abeera ku luggi lwange bulijjo,
ng'alindira ku mulyango
gw'enju yange,
35kubanga buli anzuula
aba azudde bulamu,
era alyagalibwa Mukama.
36Naye oyo akola
ekibi n'annyiiza,
yeerumya yekka.
Bonna abankyawa,
baba booya kufa.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.