ENGERO 10
10
Engero za Solomooni
1Omwana ow'amagezi,
asanyusa kitaawe;
naye omwana omusiru,
anakuwaza nnyina.
2Obugagga obufunibwa mu bukumpanya,
tebuliiko kye bugasa;
naye okuba omwesimbu,
kutaasa obulamu bwo.
3Mukama taalekenga
muntu mulungi kufa njala;
naye ababi, abaziyiza
okufuna bye beegomba.
4Emikono eminafu
gissa nnyinigyo obwavu;
naye emikono gy'omunyiikivu,
gimuwa endulundu y'ebintu.
5Omuntu ow'amagezi
akungula mu budde obw'ekyeya;
naye eyeebaka mu bw'amakungula,
akwasa abantu ensonyi.
6Omuntu omulungi, afuna emikisa;
naye ababi, boogera bya bukambwe.
7Omuntu omulungi,
anajjukirwanga nti wa mukisa;
naye omubi, alyerabirwa.
8Omuntu omutegeevu,
ayaniriza ebimulagirwa;
naye omubuyabuya,
alizikirira.
9Omuntu akolera ku mazima,
aba bulungi, era aba mirembe;
naye omukumpanya,
alimanyibwa.
10Oyo abikkirira amazima
ng'atemya ku liiso,
aleeta okunakuwala;
n'oyo ayogera eby'obusiru, alizikirira.
11Ebigambo by'omuntu omulungi,
biba nsulo ya bulamu;
naye eby'omubi,
bikweka bukambwe.
12Obukyayi buleeta ennyombo;
naye okwagala,
kusonyiwa ebisobyo byonna.#Laba ne Yak 5:20; 1 Peet 4:8
13Mu bigambo by'omutegeevu,
mubaamu amagezi;
naye omugongo gw'omusiru,
gusaanira kukubwa miggo.
14Abantu ab'amagezi,
tebasamwassamwa na bigambo;
naye omusiru by'ayogera,
bimuleetera okuzikirira.
15Omugagga, by'alina bimukuuma;
naye obwavu,
buzikiriza oyo abulina.
16Omuntu ow'empisa ennungi,
by'akola bimuleetera kuba mulamu;
naye omwonoonyi,
yeeyongera kukola bibi.
17Oyo akkiriza okubuulirirwa,
akuuma obulamu bwe;
naye oyo agaana okunenyezebwa,
talema kuwaba.
18Omuntu akweka obukyayi,
aba mulimba;
n'oyo awaayiriza munne,
aba musirusiru.
19Mu kwogera ebigambo ebingi,
temubulamu bisoba;
naye asirika,
ye aba omwegendereza.
20Omuntu omulungi by'ayogera,
biba nga ffeeza omuyooyoote;
naye ebirowoozo by'ababi,
tebiriiko kye bigasa.
21Ebigambo by'omuntu omulungi,
bigasa bangi;
naye abasiru bafa,
olw'okubulwa okutegeera.
22Omukisa gwa Mukama
gwe gugaggawaza,
era tegujjirako buyinike.
23Okukola ebibi,
gwe muzannyo gw'abasiru;
naye okukola eby'amagezi,
kye kisanyusa abategeevu.
24Omuntu omubi,
alituukibwako ekyo ky'atya;
naye abalungi,
baliweebwa bye beegomba.
25Kibuyaga bw'akunta,
ababi bamenyebwawo;
naye abalungi,
musingi mugumu
ogw'olubeerera.
26Bw'otuma omugayaavu, akulumya
ng'omwenge omukaatuufu
bwe gunyenyeeza amannyo,
era ng'omukka,
bwe gubalagala mu maaso.
27Okutya Mukama kuwangaaza omuntu;
naye emyaka gy'ababi,
girisalibwako.
28Abalungi basuubira
okusanyuka gye bujja;
naye ababi, tebalina
kalungi ke basuubirayo.
29Mukama akuuma abalungi;
naye ababi, abazikiriza.
30Abantu abalungi,
tebalisengulwa ennaku zonna;
naye ababi, tebalikkalira mu nsi.
31Abantu abalungi,
boogera eby'amagezi;
naye abalimba, balisirisibwa.
32Abantu abalungi bamanya
ebisaanye okwogerwa;
naye ababi, boogera
ebitabula abantu.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.