رفتن به محتوا

ENGERO 30

30
Aguri bye yayogera
1Bino bye bigambo bya Aguri,
mutabani wa Yaake ow'e Messa,
bye yagamba Yitiyeeli#30:1 Amannya “Messa,” “Yitiyeeli,” ne “Wukali,”: Abamu bagavvuunula mu makulu gaago: Messa = “Ebyalangibwa” oba “Ebyalagulwa”; Yitiyeeli = “Nkooye, ayi Katonda;” Wukali = “Mpweddewo.”,
Yitiyeeli oyo ne Wukali, nti:
2“Mazima nze muntu
asingayo obusiru
era siriimu
magezi ga muntu.
3Siyiganga magezi,
wadde okumanya
ebifa ku Katonda.
4Ani yali alinnye mu ggulu,
ate n'awanukayo n'akka?
Ani yali awumbidde
empewo mu bikonde bye?
Ani yali akuumidde
amazzi mu kyambalo kye?
Ani yateekawo
ensalo zonna ez'ensi?
Erinnya lye ye ani,
ne mutabani we ye ani,
oba ng'omanyi?
5Katonda atuukiriza
buli ky'asuubiza;
era Ye, ye ngabo,
ekuuma abamwesiga.
6Era ebigambo bye,
tobikookerangako bibyo,
aleme okukunenyanga
n'ayoleka obulimba bwo.”
Okusaba Katonda emikisa
7Nkusaba ebintu bibiri,
ayi Katonda,
obimpe nga sinnafa:
8mponya ebikyamu n'obulimba,
tompanga bwavu,
wadde obugagga,
naye ompenga ebyokulya
bye neetaaga;
9nnemenga okukkuta ekiyitiridde,
ne nkwegaana ng'aŋŋamba nti:
“Mukama ye ani? Simwetaaga”;
era nnemenga okuba omwavu ne nziba,
ne nvumaganya erinnya lyo,
ayi Katonda wange.
10Towaayirizanga muweereza
eri mukama we,
alemenga okukukolimira,
n'ovunaanibwa omusango.
11Waliwo abakolimira bakitaabwe,
era ne batasabira
bannyaabwe mikisa.
12Waliwo abalowooza nti
balongoofu,
sso nga balina ebibi,
bye basaanye okwenenya,
bibasonyiyibwe.
13Waliwo abantu abalaba nti
bo ba waggulu nnyo,
era ne balowooza nti
be basinga abalala bonna.
14Waliwo abakozesa obukambwe
okunyuunyunta abaavu
n'abateeyamba,
bo beefunire
ebibayimirizaawo.
15Okwegomba#30:15 Okwegomba…ebigambo bibiri…: Mu Lwebureeyi, waliyo “Ekinoso ekirina bawala baakyo babiri,” amakulu gaakyo, “Tekikkuta musaayi era buli kiseera kisaba kukiwa.” kumanyi
ebigambo bibiri byokka:
ekisooka, “Mpa”
n'ekyokubiri, “Mpa.”
Waliwo ebintu bisatu
ebitakkuta ennaku zonna,
ddala biri bina ebitamatira:
16Ebyo ge magombe,
n'enda y'omukazi omugumba,
ensi enkalu erakasidde,
n'omuliro mutakkutanku.
17Amaaso g'oyo anyooma kitaawe,
oba ag'oyo agaana
okuwulira nnyina,
gasaanye gaggyibwemu
binnamuŋŋoona eby'omu kiwonvu,
era gabojjogolwe ensega.
18Ebintu bisatu
ebyannema okutegeera,
ddala biri bina
bye simanyi:
19engeri bino gye bimanyaamu
ekkubo lye binaayitamu:
empungu ebuukira mu bbanga,
omusota ogwewalulira ku lwazi,
eryato eriseeyeeya
mu buziba bw'ennyanja,
n'engeri omukwano gye gujja
wakati w'omusajja n'omukazi!
20Eno ye nkola
y'omukazi omwenzi:
olumala okwenda,
anaaba ne yeesaanya,
olwo n'agamba nti:
“Siriiko kibi kye nkoze.”
21Waliwo ebintu bisatu
ebikankanya ensi,
biri bina
by'eteyinza kugumiikiriza:
22omuddu okufuuka kabaka,
n'omusiru okuba
na buli kye yeetaaga;
23omukazi kibijjigiri okufumbirwa,
n'omuzaana okusikira mugole we.
Obuwuka obw'amagezi
24Ku nsi kuliko
ebintu bina ebitono,
naye ebirina amagezi amangi ennyo:
25enkuyege, kale buntu
obutalina maanyi,
naye bweterekera
bye bunaalya mu kyeya.
26Obumyu nabwo
si bwa maanyi,
naye bwezimbira
amaka mu mayinja.
27Enzige tezirina kabaka,
naye zikumbira mu bibinja.
28Omunya mwangu okukwata,
n'oguteeka mu kibatu;
naye gubeera ne mu mbiri
za bakabaka.
29Waliwo ebintu bisatu
ebikumba n'oyagala,
ddala biri bina
ebitambuza essimbo:
30empologoma ekira amaanyi
mu nsolo endala zonna,
tewali ndala gy'etya;
31embwa enjizzi,
ennyonyi muzinge,
sekkokko empanga,
n'embuzi ennume,
ne kabaka ali n'eggye lye.
32Bw'obanga okoze eky'obusiru
ne weekuluntaza,
oba n'oteesa okukola ekibi,
osirikanga n'olowooza;
33kubanga okusunda amata
nga bwe kuleeta omuzigo,
n'okunyigiriza ennyindo
nga bwe kugireeta omusaayi,
bwe kutyo n'okusitula obusungu,
bwe kuvaamu ennyombo.