ENGERO 29
29
Obufuzi obulungi
1Omuntu anenyezebwa
emirundi emingi
n'akakanyalira mu nsobi,
alimenyeka nga tamanyiridde,
n'atasobola kuwonyezebwa.
2Ng'abantu abalungi be bafuga,
abantu basanyuka;
naye ababi bwe baba mu buyinza,
abantu basinda.
3Ayagala amagezi,
asanyusa kitaawe;
naye abeera ne bamalaaya,
amalawo ebintu bye.
4Kabaka bw'alumirwa obwenkanya,
ensi ye etereera;
naye bw'aba asaba enguzi,
ensi agittattana.
5Omuntu awaanawaana munne,
aba amutega kitimba.
6Omuntu omubi,
akwatirwa mu nsobi ze;
naye omulungi,
asanyuka n'ayimba.
7Omulungi amanya ebyo,
abaavu bye bagwanira okuweebwa;
naye omubi, tabirowoozanako.
8Abantu abatalumirwa balala
basasamaza ekibuga;
naye abantu abategeevu,
bakkakkanya obusungu.
9Omuntu ow'amagezi
bw'awakana n'omusiru,
omusiru asunguwala,
oba asekereza,
n'aleetawo okucankalana.
10Abaagala okutemula,
bakyawa atalina musango;
naye abantu abalungi,
bafuba okutaasa obulamu bwe.
11Omusiru alaga
obusungu bwe bwonna,
naye ow'amagezi
abuziyiza n'abukkakkanya.
12Omufuzi bw'awuliriza
eby'obulimba,
abakungu be bonna
baba babi.
13Omwavu, n'oyo amunyigiriza,
balina ekibagatta:
bombi Mukama
ye abawa ekitangaala
ne balaba.
14Kabaka asala emisango gy'abaavu
mu bwenkanya,
obwakabaka bwe bunaanyweranga
ennaku zonna.
15Okugolola n'okukangavvula,
biyigiriza;
naye omwana alekerwa awo,
aswaza nnyina.
16Ababi bwe baba mu buyinza,
okuzza emisango kweyongera;
naye abalungi baliraba
okugwa kw'ababi abo.
17Kangavvulanga omwana wo,
anaakweyagazanga,
era anaakuleeteranga
okuwulira essanyu.
18Awatali kuluŋŋamizibwa Katonda,
abantu bacankalana;
naye akwata Amateeka,
wa mukisa.
19Omuddu takangavvulwa
na bigambo bugambo,
kubanga ne bw'ategeera,
tassaayo mwoyo.
20Omusiru wandibaako
k'omusuubiramu,
okusinga oyo
afubutukira ebigambo.
21Aginya omuweereza we
okuva nga muto,
oluvannyuma alimukikinalako.
22Omuntu ow'akasunguyira,
awakula ennyombo;
n'ow'ekiruyi,
agwa mu nsobi nnyingi.
23Okwekuza kw'omuntu,
kumutoowaza;
naye omwetoowaze mu mutima,
aweebwa ekitiibwa.
24Assa ekimu n'omubbi,
akyawa bulamu bwe;
ne bwe bamulayiza,
takwekula mazima.
25Oyo atya obutyi abantu,
yeesuula mu kabi;
naye eyeesiga Mukama,
aba n'emirembe.
26Bangi abaagala okuganja mu bakulu;
naye Mukama ye atufuula abenkanya.
27Omuntu omubi,
akyawa ow'empisa ennungi,
n'ow'empisa ennungi,
akyawa omuntu omubi.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.