ENGERO 31
31
Omufuzi omulungi
1Bino bye bigambo bya Lamweli
Kabaka wa Massa,
nnyina bye yamuyigiriza:
2ayi mwana wange
gwe nneezaalira,
omwana wange ow'obulenzi,
omwana gwe nawongera Mukama!
3Amaanyi go,
togamaliranga ku bakazi;
bazikirizza ne bakabaka!
4Lamweli, wulira:
tekigwanira bakabaka
okunywanga omwenge,
n'okululunkanira
buli ekitamiiza.
5Sikulwa nga bwe bagunywa,
beerabira amateeka;
era abanyigirizibwa,
ne batabasalira mazima.
6Omwenge nno guwenga
ayagala okuzikirira,
n'omuntu oyo
alina ennyo obuyinike.
7Oyo anywe,
yeerabire obwavu bwe,
era alemenga
okujjukira ennaku ye.
8Yogereranga
abatalina bwogerero,
olwanirirenga
abataliiko mwasirizi.
9Yogeranga,
olwanirire obwenkanya,
otaasenga eby'abaavu
n'eby'abali mu bwetaavu.
Okuzuula omukazi ow'empisa ennungi
10Ani ayinza okuzuula
omukazi ow'empisa ennungi?
Omukazi oyo asinga wala amayinja
ag'omuwendo ennyo.
11Bba amwesiga,
era amufunamu omugaso.
12Omukazi oyo,
mu bulamu bwe bwonna,
ayisa bulungi bba,
era tamutuusaako kabi.
13Anoonya ebyoya by'endiga
era ne ppamba,
n'aluka engoye ng'asanyuka.
14Ali ng'amaato g'abasuubuzi;
emmere agiggya n'ebunaayira.
15Azuukuka ku makya
nga tebunnalaba,
n'ategekera ab'omu maka ge ebyokulya,
era n'alaga
abakozi be abawala
eby'okukola.
16Alaba ekibanja n'akigula,
n'akozesa ensimbi ze
n'akisimbamu emizabbibu.
17Anyiikira okukola n'amaanyi,
ng'akozesa emikono gye.
18Alaba omugaso
gw'ebyo by'akola,
n'alyoka akola n'ekiro
ku ttaala.
19Yeerangira ewuzi ze,
yennyini n'aluka engoye ze.
20Wa kisa mu kugabira abaavu,
era ayamba abali mu bwetaavu.
21Obudde ne bwe bunnyogoga,
tabutya,
kubanga ab'omu maka ge,
abambaza ne babuguma.
22Yeekolera engoye ennungi,
ayambala ziri ennyirivu
eza ppamba,
awamu n'eza siliki.
23Bba, amanyiddwa bulungi,
bw'atuula ne banne abataka
awaba embuga ku miryango.
24Omukazi oyo atunga
ebyambalo n'atunda.
Akola n'enkoba, n'aziguza
omusuubuzi azeetaaga.
25Wa maanyi era waakitiibwa,
atatya ebigenda okujja.
26Ayogera bya magezi,
era abuulirira na kisa.
27Alabirira ab'omu maka ge,
era tali ku bya bugayaavu.
28Abaana be bagamba nti
nnyaabwe wa mukisa.
Ne bba amutendereza nti:
29“Abakyala bangi abeegendereza,
naye ggwe obasinga bonna!”
30Okuba n'amaaso agasikiriza,
kulimbalimba,
n'obubalagavu tebugasa;
naye omukazi assaamu
Mukama ekitiibwa,
ye agwanira okutenderezebwa.
31Oyo mumuwe ku by'akoleredde,
era kituufu atenderezebwe,
bonna we bakuŋŋaanidde.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.