ENGERO 28
28
Okukkiriza Amateeka
1Ababi badduka nga
tewali abagoba;
naye abalungi, baba
bazira ng'empologoma.
2Eggwanga omuba obutabanguko
liba n'abafuzi bangi;
naye bwe lifuna omufuzi
ow'amagezi era omutegeevu,
litebenkera.
3Ow'obuyinza anyigiriza abaavu,
ali ng'enkuba erimu kibuyaga,
ezikiriza emmere yonna.
4Atassaamu mateeka kitiibwa,
awagira ababi;
naye oyo agakwata,
abalwanyisa.
5Abantu ababi,
tebategeera bwenkanya;
naye abassaamu Mukama ekitiibwa,
babutegeera bulungi.
6Okuba omwavu omwesimbu,
kusinga okuba omugagga omukumpanya.
7Omwana akwata amateeka,
wa magezi;
naye akwana bakirimululu,
aswaza kitaawe.
8Eyeegaggawaza
ng'aseera afune amagoba,
obugagga bwe
abukuŋŋaanyiza oyo,
akwatirwa ekisa abaavu.
9Agaana okuwulira amateeka,
okwegayirira kwe,
Katonda akwenyinyala.
10Akyamya omulungi
n'amukozesa ekibi,
yennyini aligwa
mu bunnya bw'asimye;
naye abatalina musango,
balifuna ebirungi.
11Omugagga alowooza nti wa magezi;
naye omwavu eyeetegereza,
amutegeera.
12Omulungi bw'afuna obuyinza,
wabaawo okujaguza;
naye omubi bw'akuzibwa,
abantu beekweka.
13Akweka ebibi bye yakola,
taliba bulungi;
naye buli abyatula n'abyenenya,
abisonyiyibwa.
14Assaamu Mukama ekitiibwa bulijjo,
aliba wa mukisa;
naye amujeemera,
aligwa mu kabi.
15Omufuzi omubi afuga abaavu,
ali ng'empologoma ewuluguma,
n'eddubu eyeetala okutaagula.
16Omufuzi atafa ku bantu,
aba mukambwe;
naye oyo akyawa obulyake,
anaalwanga ku bufuzi.
17Omuntu bw'azza ogw'obutemu,
asaana abenga mubungeese
okutuusa lw'alifa,
era walemenga kubaawo amuyamba.
18Akolera ku bwesimbu,
aliba bulungi;
naye atali mwenkanya,
alimenyekawo mangu.
19Omulimi omunyiikivu,
aliba n'emmere nnyingi;
naye ayita n'abagayaavu,
anabeeranga mwavu.
20Omuntu omwesigwa,
alifuna emikisa;
naye abuguutanira
okugaggawala,
talirema kubonerezebwa.
21Okusosola mu bantu, kibi;
naye abantu bakola ebibi
olw'okufuna ke banaalya.
22Omuntu eyeefaako yekka,
abuguutanira okwegaggawaza,
sso n'atamanya nti
obwetaavu bulimutuukako.
23Agolola munne ensobi,
oluvannyuma aliganja,
okusinga amuwaanawaana.
24Buli alowooza nti si musango
okubba ebintu bya kitaawe
oba ebya nnyina,
aba wa kinywi kimu n'omutemu.
25Alulunkanira ebintu,
aleeta ennyombo;
naye eyeesiga Mukama,
anaabanga n'omukisa.
26Eyeesiga ye by'alowooza,
oyo aba musiru;
naye oyo agoberera
ebimuyigirizibwa ab'amagezi,
ye aliba obulungi.
27Agabira abaavu,
taabenga mu bwetaavu;
naye omuntu abalaba
n'atabafaako,
alikolimirwa bangi.
28Ababi bwe baba mu buyinza,
abantu beekweka;
naye bwe bawanulwa ku bufuzi,
abantu abalungi
beeyongera okwala.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.