رفتن به محتوا

ENGERO 27

27
1Teweenyumirizanga
lwa binaabaawo nkya,
kubanga olunaku bye
lunaaleeta tobimanyi.#Laba ne Yak 4:13-16
2Lekanga abalaba,
wadde bagwira,
bakutendereze,
naye sso si ggwe
kwetendereza.
3Ejjinja n'omusenyu
weewaawo bizitowa,
naye emitawaana egireetebwa omusiru,
gibisinga byombi obuzito.
4Obusungu n'ekiruyi bikambwe,
era bizikiriza ebintu;
naye tebyenkana buggya.
5Akubuulira ensobi yo
n'atagikukisa
akira agikukweka
ng'ayagala okukulaga
nti akwagala.
6Weesige mukwano gwo akunenya,
naye sso si mulabe wo akuwaana.
7Wadde ebisenge
by'omubisi gw'enjuki,
omukkufu tabyetaaga;
naye omuyala,
n'ebyokulya ebikaayirira,
abiyita biwoomerevu.
8Omuntu abuze
n'ava awaka waabwe
ali ng'ennyonyi ebuze
n'eva mu kisu kyayo.
9Okubuulirirwa
ow'omukwano akulumirwa,
kusanyusa ng'omuzigo,
n'ebyakawoowo ebyesiigibwa.
10Toyabuliranga mukwano gwo,
wadde mukwano gwa kitaawo.
Togendanga wa muganda wo
ng'ofunye ekizibu.
Muliraanwa akuli okumpi,
akira owooluganda ali ewala.
11Mwana wange,
beeranga wa magezi,
onsanyusenga;
olwo buli ananvumanga,
ndyokenga nfune kye mmuddamu.
12Omuntu omwegendereza,
alaba akabi nga kajja
n'akeewala;
naye oyo atalowooza,
akatambaala,
ne yejjusa luvannyuma.
13Kituufu otwale
ekyambalo ky'oyo
akiwaayo ng'omusingo,
okweyimirira gw'atamanyi.#27:13 kye kimu ne 20:16
14Azuukuka ku makya ennyo
n'aleekaana okulamusa munne,
abalwa ng'amukolimira.
15Omukazi omuyombi,
ali nga nkuba nnyingi,
etonnya nga tekya,
16kizibu nnyo okumusirisa;
kiba nga kuziyiza mpewo ekunta,
oba okunyweza ekintu mu mukono,
nga kiseerera amafuta.
17Kale ng'ekyuma
bwe kiwagala kinnaakyo,
n'omuntu bw'atyo
bw'ayigiriza muntu munne.
18Alabirira omuti ogw'ebibala,
anaalyanga ku bibala byagwo;
n'oyo aweereza mukama we,
anassibwangamu ekitiibwa.
19Ng'omuntu bwe yeeraba
ng'atunudde mu mazzi,
bwe gutyo n'omutima gwe
bwe gumwoleka bw'ali.
20Era ng'emagombe
bwe watajjula baafa,
n'amaaso g'abantu,
bwe gatakkuta kulaba.
21Nga ffeeza ne zaabu
bwe bitukuzibwa
akabiga k'omuliro,
n'omuntu gwe batendereza,
bw'atyo bw'amala okugezebwa.
22Omusiru ne bw'omukuba
okujula okumutta obussi,
era obusiru bwe tebumuvaako.
23Beera munyiikivu
okulabirira embuzi zo,
n'endiga zo n'ente zo,
24kubanga obugagga tebubeerera,
n'engule y'obwakabaka,
tesikirwa mirembe gyonna.
25Omuddo bwe gukala
n'omulala ne gumera,
n'ogw'oku nsozi
ne gukuŋŋaanyizibwa,
26lw'olyekolera ebyokwambala,
mu byoya by'endiga zo;
n'otunda ne ku mbuzi zo,
ne weegulira ebibanja.
27Onoofunanga amata agakumala
ggwe n'ab'omu maka go,
ne ganywebwako n'abakozi bo.