رفتن به محتوا

ENGERO 24

24
- 19 -
1Tokwatirwanga
bakozi ba bibi buggya,
era teweegombanga kubeera nabo,
2kubanga balowooza bya bukambwe,
era boogera bya kutabulatabula.
- 20 -
3Kyetaagisa amagezi,
okussaawo omusingi gw'ennyumba,
era kyetaagisa okuyiiya
n'okutetenkanya, okugizimba;
4awali okumanya,
ebisenge byayo bijjuzibwa
ebyobugagga amakula,
era ebirungi ebiteŋŋeenya.
- 21 -
5Omuntu omugezi ye wa maanyi,
ddala omuntu omutegeevu
ye w'obuyinza,
6kubanga okulwana olutalo,
kyetaagisa okukola
entegeka ez'ekikugu;
era awaba abawi b'amagezi abangi,
we wabeera emirembe.
- 22 -
7Eby'amagezi bisukkiridde nnyo omusiru
era talina ky'ayinza kwogera,
we basalira emisango.
- 23 -
8Ateekateeka okukola akabi,
balimuyita kalinkwe.
9Omusiru buli ky'ateekateeka okukola,
kiba kibi;
era abantu beetamwa omunyoomi.
- 24 -
10Bw'onafuyira mu kiseera
mw'ofunidde ebizibu,
ddala amaanyi go gaba matono.
- 25 -
11Yamba abagenda okuttirwa obwemage,
obawonye, baleme kutirimbulwa.
12Oyinza okugamba nti:
“Ekyo saakitegeerako.”
Oyo apima ekiri mu mutima takulaba?
Oyo akuuma obulamu bwo akumanyi,
era alikusasula,
okusinziira ku by'okola.
- 26 -
13Mwana wange,
lyanga omubisi gw'enjuki,
kubanga mulungi.
Ebisenge byagwo
nga bwe bikuwoomera,
14manya nti n'amagezi bwe gatyo
bwe gawoomera obulamu bwo.
Bw'ogafuna,
oliba bulungi gye bujja,
by'osuubira birituukirira.
- 27 -
15Weewale okuba ng'abantu ababi:
abateegera mu maka g'omulungi,
era abateesa okumunyagako
amaka ge mw'abeera.
16Omulungi ne bw'agwa
emirundi emingi,
ayimukawo buli mulundi;
naye omuntu omubi
bw'alijjirwa emitawaana,
girimuzikiriza.
- 28 -
17Tosanyukanga, omulabe wo
bw'agwibwako akabi;
tojaganyanga,
ng'asirittuse n'agwa,
18kubanga Mukama bw'alaba
ng'okoze bw'otyo,
anyiiga, n'alekera awo
okumusunguwalira.
- 29 -
19Toggweebwangako mirembe
olw'abo abakola ebibi,
era tobakwatirwanga buggya,
20kubanga omubi talifuna
birungi gye bujja,
era alizikira ng'ettaala.
- 30 -
21Mwana wange,
ossangamu ekitiibwa
Mukama ne kabaka;
era teweetabanga n'abo
abaagala okujeema,
22kubanga emitawaana
egiribajjira
giribagwako bugwi,
era tewali amanyi
bwe giryenkana.
Emboozi endala ez'amagezi
23Era na bino byayogerwa
abo ab'amagezi:
okusosola mu bantu
ng'osala emisango,
si kituufu.
24Oyo agamba eyazza omusango nti:
“Ggwe mutuufu,”
abantu banaamukolimiranga,
era anaakyayibwanga buli omu.
25Naye abo ababonereza omusobya,
banaafunanga essanyu,
era banaabeeranga n'omukisa.
26Okuddamu ekituufu,
ke kabonero k'omukwano.
27Sooka oteeketeeke bulungi
emirimu gyo egy'ebweru,
otereeze bulungi ennimiro yo,
olyoke weezimbire ennyumba.
28Tolumirizanga muntu munno
awatali nsonga ntuufu,
era toyogeranga bya bulimba.
29Togambanga nti:
“Ky'ankoze nange ndikimukola,
ndimulumya nga bw'annumizza.”
30Nayita mu kibanja ky'omugayaavu,
mu nnimiro ye ey'emizabbibu,
31amaggwa nga gaduumuukidde omwo,
ng'ebunye omuddo yonna,
n'olukomera lwayo olw'amayinja
nga lugudde.
32Nagitunuulira ne ndowooza nnyo,
ne mbaako kye njiga nti:
33oba oyagala, sumagira weebakeko,
zinga emikono, owummuleko!#Laba ne Nge 6:10-11
34Naye obwavu n'obwetaavu,
birikulumba ng'omunyazi
akutte ebyokulwanyisa.