رفتن به محتوا

ENGERO 25

25
Engero endala eza Solomooni
1Era na zino ngero za Solomooni,
basajja ba Heezeekiya
kabaka wa Buyudaaya,
ze baakoppolola.
2Tussaamu Katonda ekitiibwa,
olw'ebyo bye yakisa.
Naye Kabaka,
ekitiibwa tukimussaamu
olw'ebyo by'annyonnyola.
3Kabaka by'alowooza,
bizibu okumanya;
bitwesudde ng'eggulu mu bbanga,
era ng'okukka kw'entobo y'ennyanja.
4Bw'oyokya n'oggyamu
obucaafu mu ffeeza,
omuweesi amukuweesezaamu ky'oyagala.
5Ggyawo mu maaso ga kabaka
abawi b'amagezi ababi,
olabe obufuzi bwe
bwe bujjula obwenkanya.
6Teweekuzanga mu maaso ga kabaka,
era teweeteekanga
mu kifo kya bakulu.#Laba ne Luk 14:8-10
7Kiba kirungi okukuyita nti:
“Sembera eno”,
okusinga lwe bakutoowaza
mu maaso g'omukungu.
By'oba olabye
8toyanguwanga kubiraalaasa,
balemenga kubikutuuzaamu
n'obulwa eky'okukola!
9Bw'obangako ensonga ne munno,
muginnyonnyolaganenga mwembi.
Ebadde ey'ekyama,
togimanyisanga balala,
10awulira ekyama ekyo
alemenga kukusunga,
n'osigala ng'oswadde.
11Ekigambo ekirungi
ekyogerwa mu kaseera akatuufu,
kiri ng'ebibala ebyengedde
ebifaanana zaabu,
era ebiteekeddwa
ku ssowaani eya ffeeza.
12Ow'amagezi by'abuulirira omuntu
eyeetegese okuwuliriza,
biri ng'empeta
y'omu kutu eya zaabu,
oba eby'obuyonjo
ebirala ebya zaabu.
13Omubaka omwesigwa,
azzaamu amaanyi abaamutuma,
ng'amazzi ag'okunywa agannyogoga,
bwe gaweweeza abaganywa
mu budde obw'ebbugumu.
14Oyo asuubiza ebirabo by'atagaba,
ali ng'ebire n'empewo
ebitavaamu nkuba.
15Okugumiikiriza,
kuwooyawooya omufuzi;
n'olulimi olugonvu,
lugonza ow'obuyinza.
16Bw'osanga omubisi gw'enjuki,
lyangako ogukumala obumazi,
oleme kugukkuta kiyitiridde
n'ogusesema.
17Tokyaliranga munno
mirundi mingi,
alemenga okukwetamwa
n'akukyawa.
18Omuntu awaayiriza munne
wa kabi ng'ennyondo n'ekitala,
oba ng'akasaale akoogi.
19Okwesiga omuntu atali mwesigwa
mu biseera eby'obuyinike,
kuli ng'erinnyo erirwadde,
n'okugulu okunuuse.
20Okuyimbira omuntu ali mu nnaku,
kuba ng'okweyambulamu engoye,
mu budde obw'empewo,
oba okusiiga omunnyo mu kiwundu.
21Omulabe wo bw'alumwanga enjala,
omuwanga emmere n'alya;
era bw'alumwanga ennyonta,
omuwanga amazzi n'anywa.#Laba ne Bar 12:20
22Bw'okola bw'otyo,
olimuleetera okuwulira ennyo ensonyi;
era Mukama alikuwa empeera.
23Okugeya kuleeta obusungu,
ng'embuyaga ez'obukiikakkono,
bwe zireeta enkuba.
24Waakiri okubeera mu kasonda
waggulu ku nnyumba,
n'otaba na mukazi muyombi,
mu nnyumba awagazi.
25Okuwulira amawulire amalungi
agava mu nsi ey'ewala,
kuli ng'okunywa
amazzi amannyogovu
ng'obadde olumwa ennyonta.
26Omuntu omulungi
eyekkiriranya n'omubi,
aba ng'oluzzi olusiikuuse,
n'ensulo y'amazzi etabanguse.
27Nga bwe kitali kirungi
okulya omubisi gw'enjuki omungi,
era bwe kityo bwe kiri,
omuntu okunoonya okuwaanibwa.
28Atamanyi kwetangira,
ali ng'ekibuga ekirumbiddwa
nga tekiriiko kigo.