ENGERO 23
23
- 6 -
1Bw'otuulanga okuliira
awamu n'omukungu,
gendereranga nnyo
ebiteekeddwa mu maaso go.
2Weefugenga bw'oba
nga oli muyala nnyo.
3Tolulunkaniranga byassava by'agabula
ayinza okuba ng'ayagala kukugeza
alabe bw'ofaanana.
- 7 -
4Mu kukolereranga obugagga,
beeranga mugezi
olemenga kwetawaanya ekiyitiridde.
5Osimbira ki amaaso
ku binaayita obuyisi?
Kubanga mazima obugagga
bwefunira ebiwaawaatiro ng'empungu,
ne bubuuka mu bbanga.
- 8 -
6Tolyanga mmere ya muntu
eyeefaako yekka,
wadde okululunkanira
ebyassava by'agabula!
7Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye,
era ne kungulu bw'ali!
Akugamba nti: “Lya, nywa,”
naye mu mutima gwe,
nga tali wamu naawe.
8Ojja kusesema by'olidde;
n'ebigambo ebirungi by'oyogedde,
bijja kukufa bwereere.
- 9 -
9Tobangako ky'obuulira omusiru,
kubanga eby'amagezi by'oyogera
ajja kubinyooma.
- 10 -
10Tojjululanga kabonero
ka nsalo ak'edda,
era toyingiriranga
kibanja kya bamulekwa;
11kubanga Omulwanirizi waabwe,
wa maanyi;
omusango gwabwe,
ye aliguwoza naawe.
- 11 -
12Ossangayo omwoyo
ku bikuyigirizibwa,
era obiwulirizanga.
- 12 -
13Tolekangayo kugolola mwana wo;
okumukubako n'omuggo,
tekijja kumutta,
14ate era okumukuba,
kye kijja okuwonya obulamu bwe.
- 13 -
15Mwana wange,
bw'obeera ow'amagezi,
nange nsanyuka.
16Ddala nja kusanyukanga,
bw'onooyogeranga eby'amagezi.
- 14 -
17Aboonoonyi tobakwatirwanga buggya,
naye lumirwanga
kussaamu Mukama kitiibwa
ebbanga lyonna;
18kubanga ddala empeera weeri,
n'essuubi lyo teririkufa bwereere.
- 15 -
19Mwana wange, teganga okutu kwo,
obeerenga wa magezi;
ofubenga okuluŋŋamya obulamu bwo.
20Tobanga mu abo
abeekamirira omwenge,
wadde mu abo
abalulunkanira ennyama,
21kubanga omutamiivu n'omuluvu,
balifuuka baavu,
ne batuuka n'okwambala enziina.
- 16 -
22Wuliranga kitaawo eyakuzaala;
era tonyoomanga nnyoko
wadde ng'akaddiye.
23Owangayo ensimbi,
okugula amazima n'amagezi,
obuyigirize n'obugunjufu,
naye tobitundanga.
24Kitaawe w'omuntu omulungi,
anaasanyukanga nnyo;
n'oyo azaala ow'amagezi,
anaamwenyumiririzangamu.
25Osaanye osanyuse
kitaawo ne nnyoko,
omukazi eyakuzaala ajaganye.
- 17 -
26Mwana wange, ssaayo nnyo omwoyo
ku bye nkugamba,
era weetegereze empisa zange.
27Omukazi malaaya,
lukonko oluwanvu;
n'abakazi abenzi,
bunnya bwa kanyigo.
28Bakuteega ng'abanyazi,
era baleetera abasajja bangi
okusuula obwesigwa.
- 18 -
29Ennaku n'obuyinike bigwira ani?
Baani ababeera n'ennyombo?
Abeemulugunya be baani,
n'abakubirwa obwereere embale?
Bantu ki abamyuka amaaso?
30Be bantu abateekuula ku mwenge;
abanoonya okunywa omuka
ogw'ekika kino na kiri.
31Tokemebwa ng'otunuulira
omwenge ogumyuse obulungi,
ogunyirira mu giraasi,
ogukka omumiro
n'obuseeneekerevu.
32Oluvannyuma ofuna kubalagalwa,
ng'ava okubojjebwa omusota;
owulira kusonsomolwa,
ng'alumiddwa embalasaasa.
33Olwo ojja kulaba ebintuntu
ebitategeerekeka,
otandike okwogera ebitakwatagana.
34Owulire ng'oli ng'agalamidde
wakati mu nnyanja,
era ng'oli ng'eyeewuubira waggulu,
ku mulongooti.
35Ojja kugamba nti:
“Bankubye ne sirumwa.
Bankubye ne siwulira kantu.
Nnaazuukuka ddi,
nzireyo ngunoonye nate?”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.