رفتن به محتوا

ENGERO 22

22
Ebiwonya omuntu era n'ebimutta
1Bw'oba wa kulondawo,
londawo erinnya eddungi,
okusinga okulondawo obugagga.
Era okuganja n'okwagalibwa,
kusinga okuba ne zaabu ne ffeeza.
2Omugagga n'omwavu,
balina ekibagatta:
Ye Mukama, bonna eyabatonda.
3Omuntu omutegeevu
alaba akabi nga kajja,
n'akeewala;
naye abatalina magezi,
bagenda bugenzi ne bakagwamu.
4Abantu abeetoowaza
n'abassaamu Mukama ekitiibwa,
bafuna obugagga n'ekitiibwa,
era n'obuwangaazi.
5Amaggwa n'emitego,
biri mu kkubo ly'ababi.
Ayagala okukuuma obulamu bwe,
abyewala.
6Yigiriza omwana wo,
nga bw'asaanye
okweyisa mu bulamu bwe;
ekyo talikivaako
ne mu bukadde bwe.
7Omuntu omugagga,
ye afuga omwavu;
n'oyo eyeewola,
aba muddu w'oyo amuwola.
8Asiga obutali bwenkanya,
alikungula mitawaana,
n'okukambuwalira banne,
kuliggwaawo.
9Wa mukisa oyo ow'ekisa,
kubanga abaavu
abagabira ku mmere ye.
10Bw'ogobawo omunyoomi,
n'entalo ziggwaawo;
era empaka n'okuswala bikoma.
11Ayagala omutima omulongoofu
n'okwogera ebigambo eby'ekisa,
afuuka mukwano gwa kabaka.
12Mukama yeekaliriza okulaba
ng'amazima gakuumibwa;
era azikiriza enkwe z'abalimba.
13Omugayaavu agamba nti:
“Ebweru eriyo empologoma,
ejja kunzitira mu nguudo.”
14Akalimi k'omukazi atali wuwo,
bunnya buwanvu:
abo Mukama b'asunguwalidde,
babugwamu.
15Kya butonde omwana omuto
okukola ebitali bya magezi;
naye okubonerezebwa,
kubimuggyamu.
16Anyigiriza omwavu,
ye yeegaggawaze,
n'oyo agabira
abagagga ebirabo,
tebalirema kwavuwala.
Ebigambo ebyayogerwa ab'amagezi abakugu
17Wuliriza ebigambo,
ab'amagezi bye baayogera;
ssaayo omwoyo, oyige
bye nkuyigiriza.
18Kiba kirungi,
singa osobola okubijjukira,
nga tosikattira na mu kubijuliza.
19Ŋŋenda okubikuyigiriza kaakano
olyoke oyige okwesiganga Mukama.
20Nkuwandiikidde emboozi amakumi asatu,
ezijjudde eby'okuyiga n'ebibuulirira.
21Zijja kukuyigiriza,
omanye amazima
g'otobuusabuusaamu,
olwo abakutumye okuganoonya,
onoobakomezangawo g'ozudde.
- 1 -
22Toyiikirizanga mwavu,
olw'okuba nga ye teyeesobola;
wadde okunyigiriza omunaku
awasalirwa omusango;
23kubanga Mukama ye ajja
okubalwanirira,
era ajja kwesimba
mu buli abatiisatiisa.
- 2 -
24Tokwananga bantu ba kasunguyira,
abasunguwala ne basuukira;
25sikulwa ng'oyiga emize gyabwe
ate n'olemwa okugivaamu.
- 3 -
26Tobanga omu ku abo abeeyama,
okusasula amabanja g'abalala.
27Bw'olemwa okugasasula,
batwala n'ekitanda ky'osulako.
- 4 -
28Tojjululanga kabonero
ka nsalo ez'edda,
bajjajjaabo ke baasimba.
- 5 -
29Omuntu anyiikira okukola,
aba takyali mu bantu ba bulijjo;
asaanira kubeeranga
mu maaso ga bakabaka.