ENGERO 21
21
1Omutima gwa kabaka,
guba mu buyinza bwa Mukama:
agukyusa n'aguzza
buli gy'ayagala,
nga bwe bakyusa amazzi
agafukirira ennimiro.
2Omuntu ayinza okulowooza nti
buli ky'akola kituufu;
naye Mukama ye apima
ekigendererwa ky'omutima.
3Okukola ekituufu
era eky'obwenkanya,
kusiimibwa Mukama,
okusinga okumuwa ebitambiro.
4Ababi bafugibwa kwekulumbaza,
na kwegomba okubi;
era ebyo byonna, bibi.
5Entegeka z'omunyiikivu,
zimuviiramu amagoba;
naye oyo abuguutanira ebintu,
yeereetako obwavu.
6Obugagga obufunibwa mu bulimba,
buyita nga mpewo, tebusimba;
abwagala, anoonya kufa.
7Ababi bamalibwawo
obukambwe bwabwe,
kubanga bagaana
okukola eby'obwenkanya.
8Obulamu bw'ababi,
tebubaamu bwesimbu;
naye omulongoofu,
akola ebituufu.
9Waakiri okubeera mu kasonda
waggulu ku nnyumba,
n'otaba na mukazi muyombi,
mu nnyumba awagazi.
10Omubi, yeegomba okukola ebibi;
tabaako n'omu gw'alumirwa.
11Omunyoomi bw'abonerezebwa,
n'atabadde mulabufu ayiga;
era ow'amagezi bw'ayigirizibwa,
yeeyongera okumanya.
12Katonda Omutuukirivu,
amanyi ebiri mu maka g'ababi;
era alibamegga ne bazikirira.
13Agaana okuwuliriza
omwavu ng'akaaba,
naye yennyini alikaaba
n'atawulirwa.
14Ekirabo ekiweere mu kyama,
kikkakkanya obusungu;
n'okuwa omuntu ekiyiiyize,
kimumalako ekiruyi.
15Abantu abalungi,
basanyukira obwenkanya;
naye abo ababi,
bubazikiriza.
16Omuntu awaba,
n'aggwaamu okutegeera,
alyesanga ali mu bafu.
17Ayagala eby'amasanyu,
wa kwavuwala;
awoomerwa omwenge
n'ebyokulya ebisava,
si wa kugaggawala.
18Abantu ababi,
batuukibwako emitawaana
gye baba baagadde
okutuusa ku balungi.
19Waakiri okubeera mu nsi ey'eddungu,
n'otobeera na mukazi muyombi,
era anyiiganyiiga.
20Omuzigo n'ebyobugagga ebirala,
bibeera mu maka g'ow'amagezi;
naye omusiru, abimalawo byonna.
21Afuba okukola ebirungi,
n'okuba ow'ekisa, awangaala;
assibwamu ekitiibwa,
era ayisibwa bulungi.
22Omutabaazi ow'amagezi,
awangula ekibuga ky'ab'amaanyi,
n'amenya ebisenge byakyo
bye beesiga.
23Buli eyeegendereza
mu by'ayogera,
yeewonya emitawaana.
24Eyeekuza ne yeegulumiza,
ayitibwa munyoomi;
aba yeepanka,
era talina gw'alumirwa.
25Omuntu omugayaavu,
attibwa okwegomba kwe,
kubanga tayagala kukola.
26Olunaku lwonna, omubi
yeegomba kubaako by'afuna;
naye omulungi agaba,
era takodowala.
27Mukama yeenyinyala
ekitambiro ky'ababi,
naddala bwe bakireeta
n'ekigendererwa ekitali kirungi.
28Omuntu awa obujulizi obw'obulimba,
alibonerezebwa;
naye oyo awuliriza ensonga,
by'ayogera bikkirizibwa.
29Omuntu omubi,
yeekazaakaza ku maaso;
naye omulungi, teyeetya.
30Tewali magezi na kutegeera,
wadde okuteesa kw'omuntu,
ebiyinza okuwakanya
ne biwangula Mukama.
31Oyinza okutegeka embalaasi
olw'okulwana olutalo,
naye Mukama ye agaba obuwanguzi.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.