ENGERO 20
20
1Omwenge gukudaalira abagunywa,
n'ebitamiiza bibaleekaanya;
n'ababyettanira, si ba magezi.
2Kabaka bw'asunguwala,
atiisa ng'empologoma ewuluguma;
kale okumusunguwaza,
kuba kwetta wekka.
3Kya kitiibwa okwewala ennyombo,
era abasiru be baagala okuyombanga.
4Omugayaavu atalima ng'enkuba etonnye
alinoonya ky'akungula, nga takiraba.
5Omuntu by'alowooza, biri ng'amazzi
agali mu luzzi oluwanvu;
omutetenkanya, ye agasenayo.
6Abantu bangi abeeyita ab'ekisa;
naye omuntu omwesigwa
ani ayinza okumuzuula?
7Abaana ba mukisa
abalisikira kitaabwe
omulungi era omwesigwa.
8Kabaka bw'atuula okusala emisango,
apima n'azuula ekirungi n'ekibi.
9Ani ayinza okugamba nti:
“Ntukuzizza omutima gwange,
kati ndi mulongoofu,
sirina kibi na kimu?”
10Mukama akyayira ddala
abakozesa minzaani
n'ebipimo ebirala ebikyamu.
11N'omwana omuto by'akola,
biraga bw'ali:
oba nga mulongoofu,
era nga mwesimbu.
12Amatu ge tuwuliza,
n'amaaso ge tulabisa,
byonna Mukama ye yabitonda.
13Tomalanga biseera byo mu tulo,
sikulwa ng'ojjirwa obwavu.
Beeranga mulabufu,
ofunenga emmere gy'olya.
14Omuguzi, ajerega ky'alamuza,
naye bw'amala okugula,
agenda yewaana
bw'akisuuzizza obusuuza.
15Eriyo zaabu, era eriyo
amayinja ag'omuwendo mangi,
naye eky'omuwendo
ekitasangikasangika,
ye muntu ayogera eby'amagezi.
16Omuntu eyeeyimirira gw'atamanyi,
asaana aggyibweko ky'asinzeewo.#Laba ne 27:13
17Oyo awoomerwa by'afunye
mu butali bwenkanya,
oluvannyuma bimufuukira
ng'alya omusenyu.
18Kyagala okubuulirirwa
mu by'oteekateeka okukola;
n'okulwana olutalo,
kyetaaga abawi b'amagezi.
19Abunza eŋŋambo,
takuuma byama;
n'oyo enjogeziyogezi,
tomwesemberezanga.
20Akolimira kitaawe oba nnyina,
obulamu bwe buliba ng'ettaala,
ezikizibwa mu kizikiza
ekikutte ennyo.
21Bw'ofuna by'otosoose kuteganira,
mu nkomerero, tebiba bya mukisa.
22Teweewereranga
kuwoolera ggwanga;
olekeranga Mukama,
n'akulwanirira.
23Mukama akyawa abakozesa
ebipimo ebitali bituufu.
Minzaani epima ebikyamu, mbi.
24Mukama ye afuga entambula yaffe.
Kale omuntu ayinza atya okutegeera
ekkubo mu bulamu bwe ly'akwata?
25Kuba kwesuula mu mutego,
okwanguwa okusuubiza
Mukama ekintu,
n'olyoka weerowooza
ng'omaze okweyama.
26Kabaka ow'amagezi
azuula abasobya,
n'ababonereza n'obukambwe.
27Omwoyo gw'omuntu, ye ttaala
Mukama gye yamussaamu,
emulisa ne munda.
28Ekisa n'obwesigwa,
bye biwanirira kabaka;
era obusaasizi,
bwe bunyweza entebe ye.
29Ekyenyumirizisa abavubuka,
maanyi gaabwe;
n'omutwe ogw'envi,
gwe gulungiya abakadde.
30Emiggo egibalagala,
gigolola empisa embi;
n'okuswanyuulwa,
kuggyamu emize.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.