رفتن به محتوا

ENGERO 19

19
Omwavu wamu n'omugagga
1Omwavu akolera ku mazima,
akira omulimba omusiru.
2Si kirungi okukola
nga tomaze kulowooza;
n'okubuguutanira ebintu,
kukuleetera okuwubwa.
3Abamu bakola eby'obusiru,
ne beereetera emitawaana,
ate ne banenya Mukama.
4Omuntu omugagga,
yeeyongera kufuna mikwano;
kyokka oyo omwavu,
ne gy'alina gimwabulira.
5Awa obujulizi obw'obulimba,
talirema kubonerezebwa.
Omulimba talibaako w'awonera.
6Bangi abaagala okuganza omugabi,
era buli muntu yeegomba
okukwana agaba ebirabo.
7Omwavu akyayibwa
baganda be bonna;
leero alabisa mikwano gye!
Abo bamwewala.
Akanda kubakoowoola,
olugenda tebadda!
8Afuna amagezi, yeegasa;
anyweza by'ayize,
afuna ebirungi.
9Awa obujulizi obw'obulimba,
talirema kubonerezebwa.
Omulimba ddala alizikirira.
10Omusiru tasaanira kuba
mu byakwejalabya,
era n'omuddu tasaanidde
kufuga bakungu.
11Omalanga kwekkaanya,
n'otomala gasunguwala;
era kiba kya kitiibwa,
okusonyiwa abasobya.
12Obusungu bwa kabaka butiisa,
ng'okuwuluguma kw'empologoma;
naye okusaasira kwe kuweweeza
ng'omusulo ogunnyikiza omuddo.
13Omwana omusiru,
nnaku ya kitaawe;
n'okuyomba kw'omukazi,
ye nkuba etekya.
14Ennyumba n'obugagga,
obisikira ku kitaawo;
naye okufuna omukazi omutegeevu,
kiba kirabo kya Mukama.
15Omuntu omugayaavu,
yeebaka otulo tungi;
kyokka atakola,
alirumwa enjala.
16Akuuma ebiragiro,
aba mirembe;
atabissaako mwoyo, afa.
17Agabira abaavu,
awola Mukama:
era Mukama alimusasula
ebirungi by'abakoledde.
18Bonereza omwana wo,
nga wakyaliwo essuubi
ery'okumugolola,
oleme kumuleka kuzikirira.
19Omuntu ow'obusungu aliriwa:
kubanga ne bw'omuwonya
omulundi ogusooka,
kirikwetaagisa
okuddamu okumuwonya.
20Wulirizanga ebikubuulirirwa,
okkirizenga okuwabulwa,
lw'olibeera omugezi gye bujja.
21Abantu bategeka bingi eby'okukola,
naye Mukama by'ayagala,
bye bituukirira.
22Ekireetera omuntu okwagalibwa,
kiba kisa kye;
n'omwavu, akira omulimba.
23Okussaamu Mukama ekitiibwa,
kuleeta okuwangaala;
ali nakwo aba mumativu,
era aba mirembe.
24Omugayaavu akoza emmere mu nva,
n'alemwa okugyeteeka mu kamwa!
25Bonereza omunyoomi,
abatalina magezi bayige.
Bw'obuulirira omutegeevu,
yeeyongera okutegeera.
26Atulugunya kitaawe,
oba agoba nnyina mu maka ge;
aba mwana kaggwensonyi,
era asaanye okuvumirirwa.
27Mwana wange, bw'okomya okuyiga,
olyerabira ne bye wali omanyi.
28Omuntu awa obujulizi obw'obulimba,
anyooma obwenkanya,
n'abantu ababi,
bawoomerwa okukola ekibi.
29Abanyoomi tebalirema
kusingibwa musango,
n'abasiru tebalirema
kubonerezebwa.