ENGERO 18
18
Obuyinike n'amagezi
1Eyeeyawula ku balala,
aba yeenoonyeza bibye yekka,
era aba awakanya ebyo
abalala bye bayita ebituufu.
2Omusiru tafaayo kutegeera;
ky'alumirwa, kwe kwogera
ekiri mu mutima gwe.
3Okukola ekibi,
kuleeta okunyoomebwa;
era awaba okuswazibwa,
tewabulawo kuvumibwa.
4Omuntu ebigambo by'ayogera,
biyinza okubaamu amagezi
agakka ng'ennyanja ey'eddubi,
amalungi ng'amazzi agakulukuta.
5Si kirungi okuginya omubi,
n'okusaliriza ataliiko musango.
6Omusiru bw'atandika oluyombo,
aba yeesabira kukubibwa miggo.
7Omusiru by'ayogera,
bye bimuzikiriza;
ebigambo bye, ye nvuba emusiba.
8Ow'olugambo by'ayogera,
biwoomera nnyo awulira,
nga bw'olya emmere ewooma,
n'ekukkalira mu lubuto.
9Akola emirimu n'obugayaavu
talina njawulo n'oyo agyonoona.
10Mukama, kigo ekigumu
abantu abalungi mwe baddukira,
ne bakuumibwa mirembe.
11Abagagga, balowooza nti
ebyobugagga bye balina,
kye kibuga kyabwe ekigumu,
era nti kye kisenge ekigulumivu
ekibataasa.
12Okwekulumbaza,
kwe kukulembera okuzikirira;
n'okwetoowaza,
kwe kukulembera okukuzibwa.
13Addamu nga tannawulira,
aba musiru, era aswala.
14Obumalirivu bw'omulwadde,
buwanirira obulamu bwe;
naye bw'aterebuka,
nga n'endasi zimuggwaamu.
15Abantu abategeevu,
bayigga bya kuyiga;
abantu ab'amagezi,
banoonya bya kumanya.
16Aleeta ekirabo,
bamuleka n'ayitawo,
n'atuuka mu maaso g'abakulu.
17Asooka okuwoza, yeetukuza,
okutuusa addako lw'ajja,
n'amulumiriza.
18Akalulu kakomya empaka,
era kalamula ab'amaanyi.
19Okuddamu okutabagana
n'owooluganda anyiize,
kizibu okusinga okuwaguza
mu kisenge ekigumu
ekyetoolodde ekibuga;
era ennyombo z'abooluganda,
ziba nzibu okutawulula,
nga bw'olaba okukutula
oba okumenya
bye basibisa ekigo ekigumu.
20Omuntu asaanidde okugumira byonna
ebiva mu by'ayogera.
21Olulimi lwa buyinza
okuleeta okufa oba obulamu.
Kale omuntu abenga
n'obuvunaanyizibwa,
ku bintu byonna by'ayogera.
22Azuula omukazi ow'okuwasa
aba azudde ekirungi,
era Mukama aba amuwadde omukisa.
23Omuntu omwavu,
akozesa ggonjebwa ng'ayogera;
naye omugagga,
addamu na bboggo.
24Ab'omukwano abamu,
baba ba kiseera buseera;
sso eriyo akunywererako
n'okusinga owooluganda.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.