رفتن به محتوا

ENGERO 17

17
1Akatono k'olya
ng'olina emirembe,
ne bwe kaba ka maluma,
kakira embaga gy'oliira
mu maka omuli okuyomba.
2Omuweereza atuukiriza
obulungi emirimu,
alifuga omwana
ow'omu nju ow'eddalu,
era alifuna omugabo gw'obusika
ng'omu ku booluganda.
3Zaabu wamu ne ffeeza,
bamugereza mu kabiga;
naye omutima gw'omuntu,
Mukama ye agugeza.
4Abakola ebibi,
be bawuliriza
emboozi embi;
n'omulimba, ye anyumirwa
okuwuliriza eby'ettima.
5Aduulira abaavu,
avvoola Omutonzi waabwe;
n'oyo asanyukira
ennaku ya banne,
talirema kubonerezebwa.
6Abakadde beeyagalira
mu bazzukulu baabwe,
n'abaana beenyumiririza
mu bakitaabwe.
7Okwogera eby'amakulu,
tekikolebwa musiru;
n'omuntu oweekitiibwa,
tagwanira kuba mulimba.
8Eriyo abalowooza nti
okuwanga enguzi
kubasobozesa byonna,
era ne beesigula nti
enguzi terina ky'eremererwa.
9Anoonya okwagalibwa,
asonyiwa abasobya;
naye ajjukiza ebisobyo,
ayawukanya ab'omukwano.
10Omuntu ow'amagezi
anenyezebwa lumu n'ayiga,
okusinga omusiru,
akubwa emiggo ekikumi.
11Omuntu omubi, buli kiseera ajeema.
Kyebaliva bamutumira
omubaka omukambwe, amukwate.
12Waakiri osisinkana eddubu
eggyiddwako abaana baayo,
n'otosisinkana musiru
ng'akola eby'obusiru bwe.
13Bw'okolera ekibi
omuntu akukoledde ekirungi,
akabi tekaliva mu nnyumba yo.
14Okutandikawo empaka,
kuli nga kuggulira mazzi.
Kale towakananga,
waleme kubaawo kuyomba.
15Eyejjeereza omuntu
eyazza omusango,
n'oyo agusala
ne gusinga ataguzzanga,
Mukama bombi abeenyinyala.
16Ensimbi omusiru z'awaayo
asasulire eby'okuyiga,
zimufa bwereere:
kuba tayinza kubitegeera.
17Ab'omukwano baagalana ennaku zonna,
n'abooluganda babaawo
kuyambagana mu bizibu.
18Buba busiru okwewaayo
okweyimirira omulala,
ng'omuteerawo akabega.
19Ayagala ennyombo,
ayoya mitawaana;
n'oyo eyeekulumbaza,
anoonya kuzikirira.
20Alina endowooza embi,
talifuna birungi;
n'ow'enjogerambi,
yeesombera akabi.
21Azaala omusiru,
yeereetera ennaku;
era kitaawe w'omusiru,
tabeera na ssanyu.
22Okuba omusanyufu,
nakwo ddagala eriwonya;
naye okuba omunakuwavu,
kukozza omubiri.
23Omulamuzi omubi,
akkiriza enguzi mu nkukutu,
n'atasala musango mu mazima.
24Omuntu omutegeevu, ategeka
n'akola eby'amagezi;
naye omusiru,
amala gatandika
kino na kiri.
25Omwana omusiru,
anakuwaza kitaawe,
era aleetera nnyina obulumi.
26Si kituufu okutanza
atazzizza musango,
era kibi okubonereza
akoze ekirungi.
27Ow'amagezi yeefuga mu by'ayogera;
era omukkakkamu, mutegeevu.
28Omusirusiru asirise,
bandimuyita omugezi;
bw'abunira n'atavaamu kigambo,
yandibalwa okuba omutegeevu.