رفتن به محتوا

ENGERO 16

16
1Omuntu ateekateeka by'anaakola;
naye Mukama ye asalawo eky'enkomerero.
2Wandirowooza nti
buli ky'okola kituufu;
naye Mukama ye alamula
ekikuli mu mmeeme.#Laba ne 21:2; 24:12; 1 Sam 16:7
3Buli ky'okola kikwase Mukama,
ebyo by'oba otegese
lwe binaatuukiriranga.
4Buli kintu Mukama yakikola,
ng'alina ekigendererwa;
era wamma n'ababi,
ye abateerawo olunaku
kwe balifunira ebizibu.
5Abeekuza bonna we bafa benkana,
Mukama abakyawa.
Teri na gye baliddukira
kibonerezo ky'alibawa.
6Okuba n'ekisa n'amazima,
bye bitukuza omwonoonyi;
era n'okutya Mukama,
kwe kuggya omuntu mu bibi.
7Bw'okola ebisanyusa Mukama,
n'abalabe b'oba nabo,
abafuula mikwano gyo.
8Akatono ak'obwenkanya,
kakira by'ofuna ebingi
nga tokozesa mazima.
9Weewaawo omuntu
ye ateesa by'anaakola,
naye Mukama
ye abiruŋŋamya okulama.
10Katonda ye aluŋŋamya
Kabaka mu by'ayogera;
ye amuyamba mu by'asalawo,
n'atawubwa mu nnamula.
11Mukama ayagala minzaani
n'ebipimo ebirala byonna
bibe bituufu;
era buli buguzi bwonna
ayagala bube bwa bwenkanya.
12Kabaka okukola ebintu ebibi
kyennyamiza,
kubanga obuyinza bwe obw'okufuga,
bumuweebwa kukola birungi.
13Bakabaka basanyukira abo,
abababuulira amazima;
era baagala abantu
aboogera ebituufu.
14Kabaka bw'asunguwala,
yandituuka n'okutta;
naye omugezi ky'ayiiya,
kumuwooyawooya mangu.
15Kabaka bw'asanyuka,
olwo n'ababe balama.
Oyo leero gw'aganza,
atonnyerwa nkuba egimusa.
16Alina amagezi n'okutegeera,
akira wala eyafuna
ffeeza wamu ne zaabu.
17Abantu abalongoofu,
beewala okukola ebibi;
era oyo anaawonya obulamu bwe
yeegendereza empisa ze.
18Okwekuza kuleeta okuzikirira;
n'okwegulumiza kuvaamu okugwa.
19Okwetoowaza n'oba wamu n'abaavu,
okira agabana omunyago
awamu n'abeekulumbaza.
20Omwegendereza mu buli kimu,
anaabeeranga bulungi;
era eyeesiga Mukama,
aba wa mukisa.
21Omuntu ow'amagezi,
gwe bayita omutegeevu;
ow'ebigambo ebiseeneekerevu,
mwangu okumatiza abantu.
22Amagezi g'omutegeevu,
gamuviiramu obulamu;
naye okusomesa omusiru,
oteganira bwereere.
23Ow'amagezi ayogera bya makulu,
ne by'ayogera,
ne bimatiza abantu.
24Ebigambo eby'ekisa,
nga biba biwoomerevu!
Bizzaamu amaanyi,
ne bireeta n'obulamu.
25Oluusi ekkubo omuntu
ly'ayita ettuufu,
lye limutwala mu kufa.#Laba ne Nge 14:12
26Obwetaavu buleetera
omuntu okukola,
afune k'alya.
27Omuntu omubi entagasa,
aba n'ettima,
ne by'ayogera lubabu kattira.
28Abantu ababi
bagenda bakoleeza ennyombo;
n'abageyi baawukanya
ab'omukwano ogutinta ennyo.
29Omukozi w'eby'obukambwe
asendasenda munne,
n'amukozesa ebya mbyone.
30Weerinde oyo atta ku liiso,
by'ateesa biba bya kyejo;
era bw'aluma emimwa omwekeka,
abaako akabi k'ategeka.
31Envi ez'obukadde,
ngule ya kitiibwa;
era efunibwa oyo,
akola Katonda by'ayagala.
32Omugumiikiriza aba muzira
okusinga omulwanyi nnamige;
era eyeefuga mu mutima,
asinga awangula ekibuga.
33Abantu bakuba akalulu,
balabe ekinaavaamu;
naye Mukama ye asalawo
gwe kaba kalonzeewo.